Eky’okuggyawo Ekitongole Ky’emmwanyi Ekya UCDA Gov’t Yayagadde Kubonereza Buganda – Katikkiro

  Oluvannyuma lwa palamenti okuyisa ng’eggyawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulungamya omutindo gw’emmwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nga kigattibwa ku minisitule y’eby’obulimi, obwakabaka bwa Buganda bubuddeyo ne bulaga okunyolwa olw’ensonga eno. Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde eky’okuggyawo ekitongole ky’emmwanyi ki  UCDA ekyayisiddwa Palamenti olunaku lw’eggulo n’ategeeza nti tewali kubuusabuusa ekyakoleddwa kyakoleddwa kubonereza Baganda. Mu […]

Obwakabaka Bwa Buganda Bukungubagidde Mutabani wa Wavamunno Eyafiiridde e Thailand

Joe Kayima Wavamunno, mutabani w’omugagga Prof. Gordon Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand n’afa aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe e Nakwero. Obwakabaka bwa Buganda bisinzidde mu kuziika kuno ne busaasira Prof. Wavamunno olw’okufiirwa mutabani we ono omukulu Joe Kayima Wavamunno. Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abutisse Omumyuka we Owookubiri Oweek. […]

Katikkiro Akunze Bannayuganda Okweyiwa e Namboole mu Bungi Okuwagira Cranes

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okweyiwa e Namboole mu bungi okuwagira ttiimu y’omupiira ey’e ggwanga, Uganda Cranes ng’esamba mu gw’okusunsulamu abanaasamba mu mpaka za Africa ez’akamalirizo. Uganda Cranes esamba Congo Brazaville akawungeezi ka leero (Monday) ku ssaawa emu nga gugenda kubeera ku bitaala. Katikkiro agamba nti omusambi ow’e 12 ye muwagizi ggwe […]

Katikkiro Mayiga Asabye Poliisi Okukola Emirimu mu Bukkkkamu-Asaasidde Ku Kyagulanyi

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga avuddeyo ku ky’abasirikale ba poliisi okusiwuuka empisa ne bakuba omukulembeze wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine akakebe k’omukka ogubalagala (ttiya ggaasi) ku kugulu n’alumizibwa. Katikkiro asabye abakuuma ddembe bulijjo okukola emirimu gyabwe mu bukkakkamu kubanga bwe bataba beegendereza bayinza okutuusa obulabe obw’amaanyi […]

Okwabya Ennyimbe Mpisa ya Buganda Tekuliimu Ssitaani-Katikkiro

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze abantu mu Buganda okunnyikiza empisa y’okwabya ennyimbe n’okugoberera obulombolombo obugendera ku mukolo ogwo. Kamalabyonna agamba nti okwabya olumbe mukolo muzzaŋŋanda era gwa ssanyu kubanga guyamba abantu okuddamu okusisinkana, okumanyagana n’okwezza obuggya oluvannyuma lw’okuviibwako omuntu waabwe. Mukuumaddamula era avumiridde eky’abantu obazze badibya empisa eno nga bagiyita eya sitaani, n’agamba […]

Essanyu mu Buganda, Kabaka Akomyewo ku Butaka Okuva e Namibia

Essanyu libugaanye Obuganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire amatuufu ag’okudda kwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ku butaka okuva e Namibia gy’amaze akabanga ng’awummuddemu. Okusinziira ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssaabasajja e Namibia era abadde mu mikono gy’abasawo abakugu ku nsonga z’obulamu bwe. Omutanda yayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes […]

Ekiwayi Ky’Abakulu B’ebika Mu Buganda Abaagenze e Namibia Babagaanye Okulaba Kabaka!!!

Ekiwayi ky’Abakulu b’ebika mu Buganda abaawalaazizza empaka ne bagenda e Namibia okulaba embeera Kabaka gy’alimu kibabuseeko bwe babagaanye okumulaba. Bano baagenze beewera nti ka gwake, k’etonnye, teri kigenda kubaziyiza kulaba Kabaka era ne basuubiza nti baabadde baakukomawo e Uganda babuulire abantu ba Nnamunswa embeera gy’alimu, wabula bano bibakalidde ku matama bwe babagaanye wadde okumulengerako. Okuva […]

Abakulu B’ebika Mu Buganda Batuuse e Namibia Okulaba ku Mbeera Kabaka Gyalimu

“Ab’obusolya, bbo be Bwakabaka bwa Buganda, kiba kya bulyazamaanya, okubeera ng’abakozi b’Obwakabaka bwa Buganda be babuulira Obwakabaka bwa Buganda embeera Ssaabasajja Kabaka mw’ali. N’olw’ekyo tusazeewo ng’Abataka, okugenda e Namibia okulaba Kabaka waffe bw’afaanana,” Omutaka Mbirozankya. BYA KYAGGWE TV Wadde ng’olunaku lw’eggulo Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yalabiseeko eri Obuganda ng’asinziira e Namibia gy’ali […]

Stewards to be Deployed to Fight Hooliganism in Masaza Cup

The Katikkiro of Buganda Charles Peter Mayiga emphasized discipline at the Kingdom’s sporting activities, particularly the Masaza soccer tournament. The organizers of the Masaza Cup tournament will deploy at least 200 stewards in each county to curb hooliganism. Robert Sserwanga, the Buganda Kingdom Minister of Sports, youth, and arts says this will boost safety and […]

error: Content is protected !!