Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono yawuumye ku mukolo gw’okutuuza Provost waayo ow’okutaano, Canon Godfrey Ssengendo. Canon Ssengendo yatuuziddwa omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ng’omugole yeeyamye okutumbula eby’obulamu n’eby’enjigiriza, okunyikizza enjiri mu bakkiriza, okukuuma ennono y’ekkanisa, okutumbula embeera z’abaweereza wamu n’okutondawo amakubo agavuumu ensimbi ezikola emirimu gya Lutikko gy’akulembera. Mu gumu ku mirimu […]
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo asoomoozezza Abakulisitaayo okukomya okutunula obutunuzi ng’abaweerezaa mu kkanisa bayita mu mbeera eziteeyagaza. Bp. Kagodo anokoddeyo ababuulizi abasula mu bifulukwa, ennyumba ezitonnya, abatalina mmere n’abamu ng’eby’okwambala n’okulabirira abantu ba ffamire zaabwe bibatambuza beeyogeza bokka n’agamba nti kino kikyamu nnyo naddala mu mulembe guno. Global Junior School Ushers Kids into […]