“Emyalo okusigala nga misibe kiwadde ba nnakigwanyizi omwaganya okukamula ensimbi okuva mu bakazi bano abawejjere, ekintu ekibongedde obwavu,” Namugga bwe yagambye. Abakazi abali mu mulimu gw’okuvuba, okusuubula n’okutunda mukene mu distulikiti okuli Wakiso, Mukono ne Kalangala ge bakaaba ge bakomba olw’abasirikale b’eggye lya UPDF abalwanyisa envuba embi ku nnyanja be babagamba nti basusse okubabuzaako emirembe. […]
Women engaged in the fishing business in the districts of Mukono, Wakiso and Kalangala have predicted a total breakdown of homes, rooted in vices like starvation, failure to provide education to children, biting poverty and an upsurge in related gender based domestic violence. The women from the three districts noted that as their counterparts worldwide […]
Bya Tonny Evans Ngabo Oluvannyuma lw’abakyala banneekoleragyange okutulugunyizibwa mu ng’eri ez’enjawulo omuli abasajja ababakozesa ne batabasasula, ababakaka omukwano, abagaana okukozesa kkondomu ne babasiiga ssiriimu n’ebirala omuli n’abamu abattiddwa nga bali ku mulimu, omubaka wa palamenti akiikirira abantu b’e Kyamuswa mu bizinga by’e Kalangala, Moses Kabuusu avuddeyo n’etteeka ly’agenda okuleeta mu palamenti n’ekigendererwa eky’okulungamya omulimu guno. […]
Nga Poliisi erwana obwezinzingirire okulaba ng’ekwata buli muntu eyeenyigira mu lukwe olw’okutta abadde omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa, kaweefube waayo ow’okunyweza omusajja gwe bagamba nti ye yaluka olukwe luno yasooka n’agwa butaka, ono bwe yabagwa mu buufu ne yeemulula ebigere n’abinnyika mu nsuwa ne yeetegula ekibabu oba oly’awo ekyosi kimale okuyita. Wabula ensonda […]