Omukazi agambibwa okuyiira munne asidi n’atwaliramu ne muwalawe ow’emyaka 12 kkooti gwe yali yakkiriza okweyimirirwa azzeemu n’asimbibwa mu kkooti okweyimirirwa kwe ne kusazibwamu. Prossy Awusi amanyiddwa ennyo nga Maama Quin y’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti y’e Nakifuma Peter Bukina n’amusindika mu kkomera e Nakifuma. Awusi ogumulangibwa gwe gw’okuyiira abantu babiri asidi okuli […]
Nnaabakyala ku kyalo ky’e Nakanyonyi-Bengaazi ekisangibwa mu Nakifuma-Naggalama ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono atunuulidde ebikalu mu kaguli ka kkooti, bwe bamusimbyemu ne bamuvunaana omusango gw’okubba embaata. Peninah Nabaweesi ng’ono era nannyini ssomero erimu mu kitundu kino nga muliiranwa we Yusufu Mulumwe yamukaliramu n’amulumiriza nga bwe yabba embaata ze ezaali mu kumaamira. Nabaweesi olwa leero […]
Dr. Matthew Kirabo atuusiddwa ku kkooti e Mukono mu bukuumi obw’amaanyi okuva mu basirikale b’ekitongole ky’amakomera ng’agenda kuweebwa ekibonerezo mu musango gw’okutta muganziwe. Kirabo yasingisibwa omusango gw’okutta Desire Mirembe eyali omuyizi mu Makerere University mu mwaka gwa 2015. Wabula wakati ng’omusango guno guwulirwa, Kirabo yabulawo era omulamuzi eyali my mitambo gy’omusango guno ensala ye yagiwa era n’omusingisa […]