Bya Wilberforce Kawere Omusumba w’e Nakifuma mu Bulabirizi obw’e Mukono, Rev. David Kaggwa acoomedde abazadde abayingiza abayizi ababeera bagenda okukola ebigezo eby’akamalirizzo mu bikolwa eby’okweraguza n’ekigendererwa eky’okuyita obulungi ebigezo. Rev. Kaggwa agambye nti kino kikyamu era ekikontanira ddala n’ennono za Katonda. Bino Omusumba abyogeredde ku ssomero ly’ekkanisa ya Uganda era eriyambibwako gavumenti erya Nakanyonyi S.S erisangibwa […]
Nnaabakyala ku kyalo ky’e Nakanyonyi-Bengaazi ekisangibwa mu Nakifuma-Naggalama ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono atunuulidde ebikalu mu kaguli ka kkooti, bwe bamusimbyemu ne bamuvunaana omusango gw’okubba embaata. Peninah Nabaweesi ng’ono era nannyini ssomero erimu mu kitundu kino nga muliiranwa we Yusufu Mulumwe yamukaliramu n’amulumiriza nga bwe yabba embaata ze ezaali mu kumaamira. Nabaweesi olwa leero […]