Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayogeddeko eri Obuganda mu ddoboozi ery’omwanguka era eriggumidde. Beene ng’asinzidde Namibia gye yatwalibwa okuwummulako n’okujjanjabibwa agambye nti embeera y’obulamu bwe egenda etereera era asuubira okudda ku butaka mu bbanga eritali lya wala. Yeebazizza Obuganda olw’essaala zonna ezimuweerezebwa n’obutaggwamu ssuubi wakati mu kusomoozebwa okwamaanyi. #BugandaUpdates2024
Oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu ab’enjawulo babanja n’okuteeka ku nninga naddala Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’ab’olulyo Olulangira okuvaayo bategeeze Obuganda ebikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II nga bategeeza ng’obulamu bwe butali bulungi, kyaddaaki Obwakabaka buvuddeyo n’okulambika okwenkomeredde. Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero, Katikkiro, Bamminisita e […]
Oluvannyuma lw’Abaganda ab’enjawulo okuvaayo ne batandika okwemulugunyiza abakulu mu nsi y’e Namibia nga bagamba nga bwe bateebereza okuba nga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ali mu busibe e Namibia, gavumenti yaayo evuddeyo n’etangaaza. Gavumenti y’e Namibia okuyita mu Ambasadda Martin Andjaba mu kiwandiiko kye yawandiise nga May 24, 2024, ng’adda mu kwebuuza oba […]
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ali bweru ggwanga gye yagenda okufuna obujjanjabi. Katikkiro ategeezezza nti Nga March 21, 2024, Kabaka yagenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi wabula ng’embeera y’obulamu bwe tennamusobozesa kukomawo kuba abasawo be bakyetaaga okumwetegereza engeri omubiri gye gutambuliramu ku bujjanjabi obumuweebwa. Bino […]
Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yakungubagidde musajjawe, Omubalirizi w’e Mukono ow’okubiri eyawummula, Michael Solomon Ndawula Ssenyimba eyaseeredde. Kabaka mu bubakabwe bwe yatisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yagambye nti Bp. Ssenyimba abadde mpagi sseddugge, ow’enkizo si mu buweereza bwa ddiini yokka oba mu kisaawe ky’eby’enjigiriza wabula ne mu kusitula ennono n’obuwangwa bwa […]
Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi okulaba w’e gutuuse. Omuteregga asiimye ebikolebwa n’agamba nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi. Mu masiro g’e Kasubi we wasangibwa ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga ng’eno Bassekabaka ba Buganda abana abasembayo mwe baaterekebwa. Amasiro gano abatamanyangamba baagateekera omuliro nga March 17, 2010 nga […]