Poliisi Ekutte Bana ku By’okumenya Klezia ne Babba N’okwonoona Ebintu

Bya Tonny Evans Ngabo Abakristu mu kigo kya Our Lady of Assumption e Mwereerwe, ekisangibwa mu divizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso  baguddemu encukwe bwe bakedde ku makya ne basanga nga klezia yaabwe ababbi baagimenye ne babba ebintu eby’enjawulo n’okwonoona ebintu ebiweredde ddala.  Okusinziira ku Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. James […]

Bbomu mu Kampala n’e Wakiso: Ab’amabaala bateereddwako obukwakkulizo

Bya Tonny Evans Ngabo Ng’embeera eyongera okubeera ey’obunkenke mu kibuga Kampala n’ebitundu ebimu mu disitulikiti y’e Wakiso olw’eby’okwerinda ebitabuse mu kiseeraa ng’eggwanga lyolekedde ennaku enkulu, amabaala n’ebifo ebisaanyukirwamu biteereddwako obukwakkulizo obukakali. Embeera eno eddiridde bbomu ebbiri ezaatulikidde mu bifo eby’enjawulo e Kikubamutwe mu Kabalagala n’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana ku Lwomukaaga. Omubaka wa Pulezidenti […]

error: Content is protected !!