Ssaalongo John, kati omugenzi.

Ssaalongo John: Abantu Bye Boogera ku Yali Omusomi W’ebirango ku CBS Eyafudde

3 minutes, 27 seconds Read

Eyali omusomi w’ebirango ow’erinnya ku mikutu gya leediyo ez’enjawulo okuli Leediyo Uganda, CBS ne Super FM, kati omugenzi Ssaalongo John Ssekandi Lukoda Katalikabbe abadde omutaka ku kyalo Nabuti mu kibuga Mukono, ku lunaku lwa bbalaza Mukama yamujjuludde okuva mu bulamu bw’ensi eno.

Ssaalongo John yaguddee mu kinaabiro n’amenyeka eggumba ly’ekisambi, n’addusibwa mu ddwaaliro e Naggalama, kyokka abasawo bwe baalabye nga yeetaaga okuyisibwamu emisumaali gikwate amagumba, ab’enju ne baakigaanye ne basalawo okumuggyayo bamutwale ew’omuyunzi amanyiddwa nga Balibaawo, oluvanyuma lw’okukkaanya nti tassibwaamu misumaali mu kugulu ng’abasawo bwe baabadde baagala.

Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku Leediyo Uganda ne CBS

Bano bannyonnyola nti oluvanyuma ng’ali ewa Balibaawo, ppuleesa zaamukubye ne bamuddusa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka ng’eno gye baakabatemedde oluvannyuma lw’okussa ogw’enkomererero.

Abamu ku bantu be yakula nabo, be yakola nabo wamu n’abo abaamulaba mu myaka egy’oluvanyuma, balina bingi bye balombojja ku bulamu bwe era Kyaggwe TV yasobodde okutuukirira abamu ku bbo.

NAMWANDU JOYCE NAJJUMA:  Baze mu myaka gy’ensanvu yayoolebwa wamu ne mukozi munne Dick Mulima Sempaka bwe baali bakola ku Leediyo Uganda eyali eya gavumenti ne baggalirwa mu kkomera e Luzira okumala emyezi mwenda, naye ekyewuunyisa, na buli kati tewali amanyi nsonga yabasibisa.

Ffe twali mu kkanisa nga tusaba ne tufuna amawulire nti Ssaalongo John bamukutte naye nga n’abaaleeta amawulire tebamanyi nsonga yamusibisa. Naye eyo ye yali embeera mu biseera bya Idi Amin ng’abantu bakwatibwa okuva wonna we baasangibwanga ne basibwa; ow’omukisa yawonanga naye n’abaafa bangi.

Twamukyaliranga e Luzira naye nga tetukkirizibwa kumutwalira bya kulya okutuusa Mukama lwe yamusimattusa ekkomera. Mazima kwali kumubikkako busubi, twali tuli ku kkanisa, ne batugamba nti omusibe bamutadde era akomyewo ewaka. Katonda ne tumwebaza.

Abadde musajja mukozi nnyo era obulwadde bwe bwamuggya ku nkumbi, kubanga ebiseera ebimu yassibwanga ku mukka ogw’obulamu (oxygen) nga tasobola kussa awatali mukka guno. Ku luno yagudde mu kinaabiro n’amenyeka eggumba nga kwe kwavudde olumbe olwa musse.

HARRIET KALUNGI NAMYALO MUWALAWE:  Muzeeyi amaze ebbanga  nga mulwadde, ng’olwa leero abeera mulamu, ate enkya ne lumussa wansi, bw’atyo ng’era twamanyiira. Ekyewuunyisa, omwaka guno abadde mulamu nga talina nnyo kimutawaanya. Yamala ebbanga ng’assiza ku oxygen. Bwe twamututte e Naggalama ng’amenyese, abasawo baabadde baagala kumussaamu misumaali mu kugulu naye ffe nga family ne tutakyagala olw’emyaka ne tukkaanya tumutwale ew’omuyunzi.

Yeyongera okutabuka kwe kumutwala e Mulago, wadde nga ye yabadde ayagala kumuzza waka nga tayagala kumalira budde mu ddwaliro.  Ekyabadde kimwagaza okudda ewaka kubanga yabadde tayagala bantu kumulabanga nga yeeyamba mu ngeri y’okweteewuluza ng’akola ssusu. Mulago gye yafiiridde ng’akyajjanjabwa abasawo.

SSEKANDI MUSAJJATAGERERWANZAALO MUTABANIWE: Taata atuukirizza omuzadde yenna bye yandituukirizza eri abaana be, era bwe wabaawo ebitatuukiridde, tusaba Mukama amusaasire ng’amulamula.

NRM Secretariat PRO Remanded for Slapping Traffic Police Officer

Tuteekwa buteekwa kusiima Katonda olw’myaka 92 gy’amutuwadde, ate n’atuleka nga ku ffenna tekuli mabujje. Bangi bavudde mu bulamu bw’ensi eno ne baleka abali ku mabeere oba abatanneetuuka, naye ffe Mukama akitubuusizza. W’afiiriddee ng’akyategeera, era ng’akyatuwa amagezi.

BATTE TONY MUTABANIWE: Taata abadde wa mukwano eri bonna naddala eri ffe abaana be. Atuukirizza obuvunaanyizibwa bw’omuzadde eri abaana Katonda be yamuwa. Olumu tubadde tujja gy’ali kunyumyaamu bunyumya mpozzi n’okubaako bye tumwebuuzaako. Atulekedde omuwaatwa munene nnyo!

JOHNSON MUYANJA SSENYONGAA YALI MMEEYA W’EKIBUGA KY’E MUKONO: Erinnya ly’ekyalo kyaffe Nabuti lyali lifuuse lya makulu ge gamu n’erinnya ly’omugenzi, kubanga ne bwe wabanga Kampala n’obuuza ekyalo Nabuti nga bakugamba nti obuuza ewa Ssaalongo John?

Yafuna ettutumu mu kusoma ebirango ate n’akola bulungi bwe yali ava e Mengo ku CBS n’alekayo muwalawe Christine Jenifer Nassozi. Alese omukululo ogutali mwangu kukoppa. Naye twebaza Katonda eyamutuwa. Abadde n’omukwano ogutasangika n’abaana be.

FAISAL KIGONGO LUGGYA MUNNABYABUFUZI: Bwe nnali njigga obululu bwa kansala ku distulikiti, Ssaalongo John yannyamba nnyo wano e Mukono n’eri mu Mukono South eri amaka ge ag’okubiri.

Yannyamba nnyo n’okumpa amagezi nga nyingira olwokaano lw’eby’obufuzi, ekintu ekyannyamba ennyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange.

Akozesezza Tik Talk Okuvuma Eyali Minisita Kibuule Poliisi Emukutte

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!