Abakulembeze e Wakiso Baggyeyo Enjala Okwanganga Abaagala Okubba Ettaka Ly’ekibira

1 minute, 55 seconds Read

Omubaka omukyala owa palamenti akiikirira disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima agamba nti bbo bamaliridde okuddamu okusimba emiti ku kibira kyabwe nga disitulikiti kuba gavumenti emanyi bulungi emitendera gy’erina okuyitamu ssinga ebeera eyagala okutwala ettaka ly’ekibira nga mu nteekateeka eno emitendera egyo teginnagobererwa.

MPs Rewarded with sh100m Cash Bonanza

BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Abakulembeze mu disitulikiti y’e Wakiso balumye n’ogwengulu okwanganga abantu ba ssekinnoomu abeefunyiridde ku kubba ettaka ly’ekibira ky’e Gunda.

Abakulembeze bagamba tebatidde kufaafaagana ne bannakigwanyizi abaagala okutwala ettaka ly’ekibira ky’e Gunda ekisangibwa mu Katabi ttawuni kkanso nga disitulikiti yali etandise n’okuddamu okusimbayo emiti mu kibira kino.

Bagamba nti bino byonna bigenda mu maaso wakati mu kuwakanyizibwa okw’amanyi nga we baatuukidde mu kifo kino baasanze kyateekebwako ne ggeeti obutakkiriza muntu yenna kuyingirayo kyokka nga kino abaakikola baakikola mu bukyamu.

 

Bano nga bakulembeddwamu akakiiko k’obutonde bw’ensi kibabuseeko okusanga nga n’emiti gye baali baasimba mu kifo kino gyasaayibwa kwossa n’okuteekako ffaamu y’ente n’embuzi ng’era okusinziira ku mumyuka wa ssentebe wa disitulikiti eno Betina Nantege wamu ne Faizo Nyanzi atwala eby’obutonde bw’ensi mu kkanso y’e Wakiso, basabye gavumenti bwe kiba nga ye nnyini pulojekiti zino, enoonye  ekifo ekirala we bayinza okuzissa olwo ettaka ly’ekibira balyamuke.

Omubaka omukyala owa palamenti akiikirira disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima agamba nti bbo bamaliridde okuddamu okusimba emiti ku kibira kyabwe nga disitulikiti kuba gavumenti emanyi bulungi emitendera gy’erina okuyitamu ssinga ebeera eyagala okutwala ettaka ly’ekibira nga mu nteekateeka eno emitendera egyo teginnagobererwa.

Rebbecca Bukenya Ssabaganzi akulira ekitongole ky’obutonde bw’ensi n’obugaga obw’ensibo mu Wakiso agamba nti bbo nga abavunanyizibwa ku butonde bw’ensi tebayinza kusirika ng’ebibira nnansangwa bisanyizibwawo awatali kugoberera mateeka.

Gye buvuddeko olukiiiko lwa disitulikiti y’e Wakiso lwawa akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti (CAO) nsalessale wa ssabbiiti bbiri okuloopa omusango mu kkooti nga disitulikiti ewawaabira minisitule y’eby’ettaka olw’okwagala okutwala ettaka ly’ekibira ky’e Gunda nga tebagoberedde mateeka wadde nga kino ne gye buli eno tekinnategeerekeka oba CAO yakikola oba nedda. Bino we byabeereddewo, nga CAO n’omumyukawe ali mu lusirika olw’enjawulo olwayitiddwa e Kyankwanzi nga lulimu ba CAO, ba ttawuni kkiraaka ab’ebibuga ne mmunisipaali ssaako abamyuka baabwe bonna.

Busoga Kingdom Ministers Barred From Elective Politics

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!