Emyaka gigenda mw’ena bukyanga gavumenti okuyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kulima ebinazi mu ggwanga ekya National Oil Palm Project (NOPP) etwale ettaka ly’abatuuze mu byalo eby’enjawulo e Buvuma n’eriwa yinvesita wa BIDCO n’asenda emmere yaabwe n’ennyumba mwe baasulanga nga tebannaliyirirwa.
Bano bagamba nti mu bbanga lino bayise mu kubonaabona okutagambibwa omuli okubulwa ew’okusula nga bali mu nkambi basula nga banoonyiba bubudamu, okulwala nga n’ensimbi ezibajjanjaba tebazirina ssaako abamu ku bannaabwe abafudde sso n’abaana tebasoma nga n’eky’okulya kibeekubya mpi!
Bano ennaku eno baagisindidde ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ka National Economy nga bakulembeddwamu ssentebe waako, John Bosco Ikojo, omubaka wa palamenti owa Bukedea ssaako omumyukawe, Robert Migadde Ndugwa nga y’akiikirira bizinga by’e Buvuma mu palamenti. Ensisinkano eno yabadde ku mwalo gw’e Kakyanga mu ggombolola y’e Nairambi ku Lwokuna.
Yunus Maganda nga ye ssentebe w’eggombolola y’e Nairambi yategeezezza nti mu ggombolola y’e aba NOPP gye baasinga okukola effujjo ku bantu ne babalimbalimba ne bawaayo ettaka lyabwe eri yinvesita owa Oil Palm Buvuma Limited n’asenda emmere yaabwe n’amayumba mwe baasulanga n’asimba ebinazi ng’abatuuze tebasoose kuliyirirwa.
Maganda agamba nti ebyalo ebyakosebwa kuliko; Kakyanga, Bukalabati, Kaziru ne Bukiyindi ng’abatuuze abasoba mu 1000 bali mu nkambi n’eky’okulya tebakiraba nga bano be bavuddeko n’obumenyi bw’amateeka okweyongera omuli okubba emmere n’ebisolo.
“Eby’embi, akulira NOPP Lakwonyero abantu buli kiseera asiriwaza basiriwaze nga naffe ng’abakulembeze mwatutwalidde kuba buli lwe tumukubira essimu atugumya nti wiiki ejja basasula nti ssente ziri mu nteekateeka naye mukanya kulinda nga teri kivaayo! Tubadde mu mbeera eno okumala emyaka egisoba mw’esatu kuba n’ebinazi ebyasimbibwa ku bubanja by’abatuuze bange bikuze bitandise n’okwengera, kino kikyamu nnyo era tusaba ababaka ba palamenti ensonga eno mugituyambeko kuba ffe bitulemeredde,” bwe yannyonnyodde.
Ismail Mawanda, ssentebe w’omuluka gw’e Buwanga agamba nti abatuuze n’eky’okulya tebakyakirina, akageri gye kiri nti n’omulimu ogwali gubakwatiridde ogw’okuvuba mukene ate nagwo gwayimirira gavumenti bwe yawera ekitimbwa kya hariyaapu kye baali bakozesa mu kuvuba mukene.
Margaret Namusisi omu ku batuuze agamba nti abaana baabwe bamaze ebbanga nga tebasoma kuba n’ensimbi ezigula yunifoomu ka bibeere ebitabo tebakyazirina.
“Kyannaku nti n’abamu ku bannaffe balwadde nga n’ensimbi ezibajjanjaba tebazirina sso ng’ate waliwo n’abafudde! Twebuuza twazza musango ki okututulugunya okutuuka ku kino?” bwe yeebuuzizza.
Abatuuze bagamba nti mu kiseera ng’ebinazi ebyasimbibwa mu bibanja byabwe bitandise okwengera, tebasuubira yinvesita kubinoga mpozzi ng’ensimbi ezigenda okubivaamu bagenda kuzisasula bbo okutuusa nga bamaze okubasasula ensimbi z’ettaka kwe birimiddwa.
Ssentebe Mawanda era yagambye nti ekyabamala amaanyi kwe kuba nti ne Pulezidenti Museveni yatuuka n’okuwandiika ebbaluwa n’alagira minisitule y’eby’ensimbi eweeyo ssente basasulwe kyokka beewuunya nti n’ebbaluwa eno nayo yazimuulibwa ne bagenda mu maaso n’okulya enfuufu nga mu kiseera kino tebamanyi gye bayinza kwekubira nduulu!
Wabula bakira abantu bawanda omuliro n’okwogerera akulira NOPP Susan Lakwonyero amafukuule ng’ali mu ntebe atunuulira batunuulire. Wadde bakira buli ayogera amusaba aveeyo ababuulire ddi lwe basuubirwa okusasulwa nga n’abamu bagamba nti babaddenga bamuwuliza ku masimu nga ne bwe kityo baagala okumulabako, ono ababaka baamulemesezza okwogera nga batya nti abantu bayinza okuva mu mbeera ne batuuka okumukla ekikyamu.
Omu ku babaka ba palamenti bano, Geoffrey Macho yasaasidde abatuuze kyokka ye omusango n’agusalira eyali akulira NOPP, Connie Magomu Masaaba ng’ono Lakwonyero gwe yaddira mu bigere ng’agamba nti ye yakola ensimbi okuwaayo ettaka ly’abantu ne lisendebwa ne lisimbibwako ebinazi nga tebamaze kubaliyirira.
Ye amyuka RDC w’e Buvuma, Patrick Mubiru omusango yagusalidde bakulembeze abaaliwo ng’ebibanja by’abantu bitwalibwa nga tebamaze kuliyirirwa.
Ate omubaka Migadde ono yamwanukudde n’agamba nti nabo ng’abakulembeze bakoze buli kisoboka ne batuuka n’okutuusa ensonga eno mu palamenti ne basitula n’abakulembeze okuli ne Minisita wa woofiisi ya Pulezidenti, Millya Babirye Babalanda, Ssaabaminisita yennyini, Robina Nabbanja naye byonna tebainnavaamu ggezi.
Ye ssentebe w’akakiiko, omubaka Ikojo agambye nti ensonga zino bagenda kukola alipoota bagyanje mu palamenti nga balaga byonna bye bazudde era baakuyita abantu okuva mu woofiisi ezoogerwako okuli ne minisitule y’eby’ensimbi n’ey’eby’obulimi n’obulunzi okulaba ng’abantu bava mu kubonaabona.