Mu mboozi n’omuytimbi Chris Jamo ekitundu eky’okubiri, ku Kyaggwe TV, omukutu oguli ku YouTube, mu program Art Talks, ono anyumya obulamu bwe obw’okuyimba omuli ensonga ez’enjawulo. Anyumya lwe yanywa ku njaga, ng’engeri gye yamuyisaamu, olwo lwe lwasooka era lwe lwasembayo. Ono era anyumya bwe yayimba oluyimba lwa Tonoba na byange, omuyimbi David Lutalo ne yeegatta ne Maro ne balwozaamu ne bayimba Yajja na kaveera. wabula olw’obukkakamu bwe, Chris Jamo agamba nti kino teyakiwa budde yakireka ne kikoma awo. Omuweerezaawo Isma Lewis yali mu mitambo gya program eno. @kyaggwetv1 Like, Share, Comment and subscribe to Kyaggwe TV on both FaceBook and YouTube for daily updates. https://youtu.be/zE8HLKLZIpA
Similar Posts
error: Content is protected !!