Aba mukene nga bamupakira mu nsawo okumutwala mu katale ku mwalo e Kiyindi mu disitulikiti y'e Buikwe. (EKif. Henry Nsubuga)

Aba UPDF Okutulugunya Abavubi Kigobye Abakyala mu By’obuvubi

4 minutes, 26 seconds Read

“Emyalo okusigala nga misibe kiwadde ba nnakigwanyizi omwaganya okukamula ensimbi okuva mu bakazi bano abawejjere, ekintu ekibongedde obwavu,” Namugga bwe yagambye.

Abakazi abali mu mulimu gw’okuvuba, okusuubula n’okutunda mukene mu distulikiti okuli Wakiso, Mukono ne Kalangala ge bakaaba ge bakomba olw’abasirikale b’eggye lya UPDF abalwanyisa envuba embi ku nnyanja be babagamba nti basusse okubabuzaako emirembe.

Bano balagudde nti amaka gaabwe goolekedde okumenyeka sso nga waliwo n’ag’abamu agaafa edda ng’entabwe eva ku njala, okulemererwa okuweerera abaana, obwavu obusukkiridde wamu n’okweyongera kw’obusambattuko mu maka.

Abakazi okuva mu distulikiti zino essatu bagamba nti nga bannaabwe mu nsi yonna bajaguza olw’ebikujjuko by’olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna olubeerawo buli lwa nga March 8, bbo bakolimira bajaasi ba ggwanga abali mu kitongole ekirwanyisa envuba embi ekiyitibwa Fisheries Protection Unit (FPU) olw’ebikolwa omuli okubawambako obutimba n’amaato, okutunda mukene waabwe ensimbi ne bazeekomya,  wamu n’okubaggyamu ensimbi mbu babakkirize okuvuba mukene ate oluvanyuma ne babeekyusiza, era bagamba nti boolekedde obwavu obusukkiridde nga we twogerera nga n’abasinga balya kimu, bwe balya eky’emisana olwo eky’eggulo tebalya!

UPDF Selfish, Inhuman Acts Push Women Out of Fishing Business

Abakyala bano bagamba nti gavumenti bw’eteveeyo mbagirawo okutaasa embeera esajjuse, batuuse okwawukana ne ba bbaabwe buli muntu agende yeesalire amagezi g’okubeerawo, abaana babalekere abasajja bafaafaagane nabo.

Babadde bakungaanidde ku woteeri Das Balina esangibwa e Bulenga mu distulikiti y’e Wakiso okukubaganya ebirowoozo ku nnaku eboota obuliro wamu n’okutema empenda ez’okubasomosa ebizibu ebyekiise mu mulimu gwabwe ogw’obuvubi.

Bavumiridde ne bannabyabufuzi abababuzaabuza nga babalagira okudda ku nnyanja kyokka ab’amagye bwe batandika okubayiribya, bano ne beesuulirayo ogwa nnaggamba nga n’amatu bagateekamu ppamba.

Olukungaana lwabwe lwategekeddwa ekibiina ki FIAN Uganda ekirafuubanira eddembe ly’eby’emmere, ng’ekigendererwa ekikulu kyabadde kulaba butya bwe bava ku muggalo gw’okuvuba mukene wamu n’okwetakkuluzaako bannamagye ababafuukidde ekyambika olw’ebikolobero omuli n’okubakubanga emiggo.

NRM Cadre Who Set Self on Fire at Parliament Dies at Kiruddu Hospital

Teopista Komakech abeera ku mwalo gw’e Nangoma mu ggombolola y’e Mpunge mu distulikiti y’e Mukono, yalaze ennyiike nti ne bwe balafuubana okwekuumira ku nvuba ekozesa obutimba obumanyiddwa mu mateeka obuweza ‘ggoloofa musanvu’ abaserikale aba FPU bagenda mu maaso n’okukwata abakozi baabwe, okubaggyako ebikozesebwa ne mukene, wamu n’okubaggyako ensimbi okusobola okubaddiza amaato ne yingini zaabwe. Ono agamba nti aba FPU tebakoma okwo, mukene gwe babakwatako bamwanika ne bamutunda ensimbi ne bazeekomya.

Komakech agamba nti wadde abaserikale ssi bakugu mu bya buvubi, beekwasa ensonga mbu abavubi tebakkirizibwa kuvubira mu mazzi mampi, nti n’ekirala abaserikale tebaawula ngege nto na nkejje, era nga n’ab’enkejje bavunaanwa kuvuba ngege nto ekitali kituufu.

“Mu mbeera efaanana bw’eti tetukyasobola na kusasula layisinsi za buvubi kubanga aba FPU batusasuza ssente emitwaalo 30 buli muntu ku buli lyato, ate mu kiseera ky’ekimu ne basigala nga babowa amaato ne yingini n’okukwata abakozi abakola ogw’okuvuba; ekivaamu bwe bwavu obukudde ejjembe, abaana obutasoma, okubulwa eky’okulya ng’abaana tebalina na kalondererwa awaanikiddwa mukene kubanga abaserikale be bamweyanikira oba abakozi be bassaako,” bwe yagasseeko.

18-Year-Old Student Shot Dead, Police Officer Arrested

Yagambye nti abasikale bano bafuukidde ddala bazibu nga kagumba ka mmale kuba kati n’omulimu gw’okuvuba bagwenyigiramu nga baafuna dda abavubi abaabwe ku bwaabwe, ababavubira, okwanika mukene wamu n’okubanoonyeza abaguzi okugula mukene waabwe, gwe bavuba nga bakozesa obutimba bwe bawamba ku bavubi.

Abakazi bagenze mu maaso n’okwemulugunya nti abavubi abagagga basasula ssente emitwalo ataano ne bakkirizibwa okukozesa ebitimba bya ‘ponyoka’, sso ng’omukazi atalina wadde omunwe gw’ennusu bw’agezaako okukozesa wadde akatimba akatali ka bulabe nnyo, bakwata bakwate.

Baasabye gavumenti ebatendeke okutandika okwelundira ebyennyanja olwo eby’okuvuba mu nnyanja babirekere abaserikale.

Ate omutabaganya w’ekitongole ki FIAN Uganda Shafic Kagimu yakubidde ekitongole ky’eby’obuvubi omulanga okukkiriza abakazi okuddamu okuvuba mukene kubanga nti bukya nga Minista Hellen Adoa abakaligako kiragiro kibagoba ku nnyanja, aba FPU baakizimuula nga bo bavuba ate nga  kwe bagatta n’okutulugunya abavubi n’abakyala abeenyigira mu mulimu gw’okwanika n’okusuubula mukene.

Kagimu yagambye nti ekiragiro kya Minista ekigoba abavubi ku nnyanja kyawaawaala nnyo mu mikutu gy’amawulire, nti naye wadde nga tewafulumangayo kirala kikkiriza magye kuvuba, abaserikale be beegiriiisiza ku nnyanja, nga kati olutalo luli wakati w’amagye ne bannabyabufuzi abanoonya okukwenyakwenya abalonzi, naye nga mu mbeera eno, abakazi abali mu mulimu guno be bakaaba olw’okutulugunyizibwa.

Munnakibiina ekirwanirira eddembe ly’abakazi abali mu buvubi ekya Katosi Women’s Development Trust, Namugga Vaal Benjamin yasabye gavumenti eveeyo n’engeri y’okuyamba abakazi abali mu buvubi okulaba nga bongera omutindo ku buvubi basobole okuvuganya n’abalala abalimu mulimu guno.

Yennyamidde olw’okubeera nti mu kiseera kino, waliwo abagezigezi abasaba abakazi ensimbi mbu badde ku nnyanja mu bumenyi bw’amateeka, n’asaba omuggalo guveewo n’emyalo ng’ogw’e Bugula giddemu giggulwe.

“Emyalo okusigala nga misibe kiwadde ba nnakigwanyizi omwaganya okukamula ensimbi okuva mu bakazi bano abawejjere, ekintu ekibongedde obwavu,” Namugga bwe yagambye.

Ng’awa ekifaananyi ku buseere bw’okufuna ebikozesebwa mu mulimu guno, yagambye nti eryato erikkirizibwa mu mateeka nga lissiddwamu ebikozesebwa byonna liggwera mu obukadde bw’ensimbi 12, n’agamba nti abakazi bangi obuvubi babuyingirira na mabanja ga zi bbanka.

Yagasseeko nti bwe watabaawo ngeri ya kubayamba gamba ng’okuyita mu kwongera omutindo ku bye bavuba, tebasobola kuwangaalira mu mulimu guno.

 

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!