Okusinziira ku CAO Haji Mbooge, abakulira amasomero bagamba nti abazadde beekwasa ekya Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Balaam Balugahara amaze akabanga ng’atalaaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’ategeeza abazadde nga bwe batalina kusasula nsimbi mu masomero ga gavumenti.
NUP’s Sub-county Boss, Four Others Arrested in Buvuma After LC1 Post-Election Dispute
Ng’ekitongole ekikola ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kye kijje kifulumye ennambika abayizi ku mitendera egy’enjawulo okuli aba P7, S4 ne S6 gye banaagoberera nga bakola ebigezo byabwe eby’akamalirizo ebitandika omwezi ogujja, bbo bbo abayizi abali eyo mu bikumi n’ebikumi mu bizinga by’e Buvuma boolekedde okutaataagana bazadde baabwe bwe bagaanye okubasasulira ebisale mu masomero ga gavumenti gye babadde basomera.
Embeera eno okusinga egenda kukosa bayizi abali mu bisulo mu masomero asatu gokka aga gavumenti aga ssiniya agali mu disitulikiti y’e Buvuma. Okusinziira ku bakulembeze, amasomero gano ge gayamba okusomesa abayizi abava mu bizinga 52 ebyenjawulo ebikola disitulikiti y’e Buvuma.
Abakulira amasomero gano abasatu okuli, Robinah Nakakande akola ng’omukulu w’essomero lya Buvuma College, Faridah Namusisi akulira Nairambi Seed School ne Mark Musobozi owa Bwema Seed School mu bbaluwa gye baawandikidde akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Buvuma, Haji Issa Mbooge nga September 23, baategeezezza nti baawaliriziddwa okuggalawo ebisulo oluvannyuma lw’abazadde okugaana okusasula ebisale bye baali bakkanyaako okusasula.


Nairambi Seed School lirina abayizi 870 nga ku bano 462 ba kisulo, sso ng’ate Buvuma College lirina abayizi 370 nga 200 be b’ekisulo.
Okusinziira ku CAO Haji Mbooge, abakulira amasomero bagamba nti abazadde beekwasa ekya Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Balaam Balugahara amaze akabanga ng’atalaaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’ategeeza abazadde nga bwe batalina kusasula nsimbi mu masomero ga gavumenti.
CAO kuno agattako nti abamu ku bazadde era beekwasa eky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yakuba olukungaana olusaba obululu mu January e Buvuma n’asuubiza okuzimbira Bannabuvuma amasomero abiri (2) ag’ebisulo. Wabula Mbooge yagambye nti gano tegannazimbibwa wadde ng’ate abamu ku bazadde kino nakyo bakyekwasa.


Mu bbaluwa y’abakulu b’amasomero eno era bagamba nti bakkaanya abazadde basasule wakati w’emitwalo 25 ku 30 kyokka nga zino abazadde bagaanye okuzisasula ekiremesezza enzirukanya y’amasomero gano omuli okuliisa abayizi b’ebisulo.
Abakulu b’amasomero baawedde olwa nga October 1, abazadde okugenda ku masomero gano baggyeyo abaana baabwe babazze eka olwo batandike okusoma nga baviira waka. Kyokka kino abakulembeze kyabakubye wala ne badduka za mbwa okugenda ku masomero abiri ku gano okuli Nairambi Seed School ne Buvuma College ne boogera n’abayizi, abasomsa ssaako abakulira obukiiko okuli olwa bboodi n’olwa PTA.
Abakulembeze baakulembeddwamu omubaka wa palamenti ow’e Buvuma era Minisita omubeezi ow’eby’obuvubi, Robert Migadde Ndugwa, omubaka wa palamenti omukyala, Judith Naggujja Nsubuga, ssentebe wa disitulikiti, Nixon Matia Ocheng, DEO Hussein Bugembe n’abalala.

Migadde n’abakulembeze abalala baawakanyizza eky’amasomero gano okuggalawo ebisulo nga bagamba nti amasomero gano olw’enkula y’ebizinga tegayinza kubeerawo nga tegalina bisulo kuba gayamba abayizi abava mu bizinga 52 ebikola disitulikiti y’e Buvuma.
“Awatali bisulo mu masomero gaffe kiba kitegeeza nti n’amasomero gatuuse okuggalwawo. Gano gasomeramu abayizi abava mu bizinga 52 ebikola disitulikiti y’e Buvuma. Obutafaananako ng abwe guli mu disitulikiti endala nga kumbi buli ggombolola lirimu essomero lya ssekendule erya gavumenti n’amalala mangi ag’obwannanyini, e Buvuma ku magombolola mwenda agakola disitulikiti, gavumenti erinayo amasomero asatu (3) gokka sso nga n’ag’obwannanyini tegaliiyo,” Migadde bwe yannyonnyodde.
Minisita era yasuubizza okuwandiikira Pulezidenti Museveni era ayogere ne Minisita Balaam abategeeze n’okubasaba e Buvuma baweeyo omukisa ogw’enjawulo abazadde bagire nga bakyasasulira abaana baabwe ebisale ebyo ebitonotono bye bakkanyaako.

Ye omubaka Naggujja yakoowodde abazadde okwewala okuwubisibwa kuba nti wadde amasomero gano ga gavumenti, ensimbi gavumenti z’eteekamu tezimala kulabirira bayizi ba bisulo.
“Abazadde tubasaba tusigale nga tukola ng abwe tubadde tukola. Akasente ako akatono ke mwakkanyaako mukasasule abaana bammwe basobole okusoma. Tuleme kubatemerako ttaka mu kaseera we basinga okutwetaagira nga bazadde baabwe,” bwe yannyonnyodde.
Ye DEO bugembe yagambye nti essuubi liri mu bakulembeze bano okuli Minisita Migadde ne munne Naggujja bwe bakiika mu palamenti ssaako ssentebe wa disitulikiti baveeyo boogere ne gavumenti esobole okutegeera ensonga eno kuba olw’enkula y’ebizinga by’e Buvuma, abayizi kibakaluubirira nnyo okusoma nga bava waka kuba abasinga babeera mu nkambi ng’ebibeerayo si byangu eri abayizi abali mu myaka gino egya siniya.
Lawrence Sserwanga nga y’akulira bboodi ya Buvuma College yasuubizza okuyita olukiiko lw’abazadde boogere nabo ku byasaliddwawo abakulembeze n’okubannyonnyola ku mbeera ng abwe bweri.

