author

Poliisi Eremesezza Omubaka wa Palamenti ne Banna NUP Okukuba Olukungaana!

BYA ABU BATUUSA | BUSUKUMA | KYAGGWE TV | Poliisi y’e Kasangati ezinzeeko ekifo kya Afro-Taste Garden ekisangibwa e Busukuma mu disitulikiti y’e Wakiso aba NUP mu Nansana munisaali we babadde bategese olukungana n’ebalemesa okuyingira. Poliisi esimbye kabangali yaayo ku ggeeti mu mulyango oguyingira mu kifo kino nga tekomye wano, egaanye n’okutiisatiisa bannanyini kifo kino […]

Maama Eyaleka Ow’emyezi 8 Emyaka 2 N’ena Bokka mu Nnyumba Abeewanisizza Emitima!

BYA ABU BATUUSA | WAKISO | KYAGGWE TV | Waliwo maama eyeewanisizza abatuuze emitima ng’entabwe eva ku kuva waka n’aleka abaana abato bokka mu nnyumba kati ebbanga erisobye mu wiiki emu. Hidaya Namukasa ye yeewanisizza emitima abatuuze ku kyalo Kigoma mu muluka gw’e Bukasa mu ggombolola y’e Wakiso mu disitulikiti y’e Wakiso oluvannyuma lkw’okuva ewaka n’atakomawo […]

Pr. Bugembe Akulembeddemu Nnamungi W’abantu Okuyingira mu Mwaka Omupya

Nnamungi w’omuntu yeeyiye mu bungi mu kusaba kw’okumalako omwaka 2024 n’okuggulawo omupya ogwa 2025 ku kkanisa y’omusumba Wilson Bugembe eya The Worship House e Nansana. Pr. Bugembe yasabidde abantu omwaka bagufuniremu ebirungi bingi omuli okuzimba ennyumba, okufuna ensimbi baweerere abaana baana baabwe, okugula emmotoka ez’ebirooto byabwe, okukola bbizinensi n’okuwona ebirwadde ebibatawaanya n’ebirala bingi. Okusinziira ku […]

Bannawakiso Bakyalidde Ssaabasumba Ssemogerere ne Bamusaba Emikisa

Abakulembeze abeegatira mu kibiina kya Tukolerewamu Community Development Agency ekisangibwa mu Busiro South nga bakulembeddwamu sipiika wa disitulikiti y’e Wakiso Nashif Najja baakyaliddeko Ssaabasumba wa Klezia atwala essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere mu makka ge e Lubaga ne bamukulisa okuyita mu nnaku z’Amazaalibwa ga Yezu n’okuyita mu mwaka 2024 nga mulamu. Najja nga y’omu […]

Ttiimu Z’omupiira Entebbe zittunse mu Lubwama Stuart Cup

Abantu beeyiiye mu bungi ku kisaawe ky’Entebbe mu kuggalawo ttoonamenti eyategekebwa Stuart Lubwama ng’ono yeegwanyiza obubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’Entebbe. Mu bamu ku baabaddewo ng’abajulizi nga ttiimu zino zibbinkana kwabaddeko Omubaka wa Busiro North Nsubuga Paul, Mmeeya wa Kyengera Town Council ate nga muyimbi Sir. Mathias Walukagga ne bannabyabufuzi ab’ekibina kya NUP n’abalala. Ttoonamenti […]

Abasiraamu, Abalangira N’Abambejja Bajjukidde Emirimu Gy’Omulangira Nuhu Mbogo

Abalangira n’Abambejja awamu n’Abasiramu baakunganye mu bungi mu kujjukira abantu abakoleredde ennyo Obusiramu okwali n’Omulangira Nuhu Mbogo ng’ono ye yawaayo n’ettaka okwazimbwa omuzikiti ogumanyidwa ogwa Mbogo e Kawempe. Bano baasoose na kulomba dduwa obwedda ekulemberwa ba maseeka era nga mwetabiddwamu abantu bangi okwabadde bannabyabufuzi, Abalangira, Abambejja, Bassaava ne Bannaava era nga Sheikh Abed Tamusuza ye […]

error: Content is protected !!