Poliisi Ekutte Omusamize ku By’omwana Eyasaddaakiddwa e Mukono-Bamusanze N’emirambo 7

Poliisi e Mukono eriko omusamize gw’etaasizza ku batuuze ababadde bataamye nga baagala kumutta oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebitebeerezebwa okubeera emirambo gy’abantu musanvu. Ivan Kaggwa ng’emirimu gye agikakkalabiza ku kyalo Katoogo y’akwatiddwa ku by’ekuusa ku kusaddaaka kw’omwana ow’omwaka ogumu n’emyezi esatu Shon Sserunkuuma mutabani wa Jackeline Namatovu ng’ono yabuzibwawo nga March 26, ku kyalo Buyuki mu muluka gw’e […]

Okugema Yellow Fever e Mukono Kwa Buwaze-RDC Ndisaba

Abatwala eby’okwerinda n’abakulembezze mu disitulikiti y’e Mukono basazeewo okukaka abantu bonna mu kitundu kino okugenda okugemebwa omusajja gw’enkaka (Yellow Fever) okw’ekikungo okutandiise olwa leero mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. RDC w’e Mukono, Hajjati Fatumah Ndisaba Nabitaka asinzidde mu kutongoza okugema Yellow Fever n’agamba nti wadde Bannayuganda bamanyi okulengezza ezimu ku pulogulaamu za gavumenti, okugema kuno kin […]

Loodi Meeya Elias Lukwago Addusiddwa Mu Nairobi Hospital e Kenya Ng’ataawa

Embeera ya Loodi Meeya wa Kampala, Elias Lukwago tewoomya nnakabululu, yaddusiddwa mu ddwaliro lya Nairobi Hospital e Kenya ng’obulumi bumususseeko. Abamuli ku lusegere bagamba nti okutuuka okusalawo okumutwala e Kenya yasoose kutwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo mu ggwanga okuli ery’e Lubaga gye yaweereddwa ku bujjanjabi naye ng’embeera tekyukako. Kigambibwa nti era Omuloodi yagendako ne mu ddwaliro […]

Temukozesa Mitimbagano kuwebuula be Musoowaganye Nabo-Bp. Kagodo

Abakuliaitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono bajjumbidde okusaba kw’okukuza amazuukira ga Yesu wadde ng’enkuba mu bitundu bino ekedde kutonnya ekiremesezza abamu okukeera okugenda mu kusaba. Ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya, Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo y’akulembeddemu okusaba kuno. Kagodo mu bubaka bwe akubye bannabyabufuzi akaama abagufudde omugano okukozesa emitimbagano naddala emikutu gi mugatta […]

Abaganda Basabiddwa Okwewa Ekitiibwa N’okukuliza Abaana mu Mpisa

Bya Abu Batuusa Abaganda basabiddwa bulijjo okufuba okwewanga ekitiibwa ssaako okukuliza abaana baabwe mu mpisa era nga batya Katonda. Bino bibadde mu bubaka bwa Mukuuma Mituba II mu ggombolola ly’e Katikamu mu ssaza lya Kabaka ery’e Bulemeezi, Cissy Sserunjogo mu kutuuza Ssaabawaali w’omuluka gw’e Kyalugondo mu disitulikiti y’e Luweero. Kamya Kyobe Vincent y’atuuziddwa ne banne […]

Kabaka Alabudde Abeegaana Bannaabwe Olw’omulugube Gw’eby’enfuna N’obugagga

Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi aweerezza abantu be mu Buganda n’ebweru waayo obubaka obubaagaliza Amazuukira ka Yesu Kristo. Mu bubaka bwe, Kabaka akuutidde abantu be okwewala obunnanfuusi obubatuusa okwegaana bannaabwe olw’eby’enfuna n’obugagga n’agamba nti kino si kituufu. Wabula Maaso Moogi alaze essanyu olw’amaanyi agateekeddwa mu kulwanyisa ekirwadde kya mukenenya nga mu kiseera kino, ezaali […]

Omukubiriza W’olukiiko Lw’Abataka mu Buganda Akunze Lwomwa Okugatta Bazzukulube

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Jjajja Namwama Augustine Kizito Mutumba akunze omukulu w’ekika ky’Endiga omuggya, Eria Luggya Lwasi okufuba okugatta bazzukulube abeeyawuddemu ebiwayi by’agambye nti bye byaviirako n’okuttibwa kwa Lwomwa omubuze, Ying. Daniel Bbosa. Okuvaayo ku nsonga eno, Jjajja Namwama abadde ayogera eri Lwomwa Luggya Lwasi oluvannyuma lw’okumumwanjulira mu butongole ku Bulange e Mengo. Lwomwa omubuze, Ying. […]

Kyagulanyi Afuumudde Mpuuga ku Bumyuka bwa Pulezindeti wa NUP

Ssenkaggale w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine akozesezza obuyinza bwe obumuweebwa ekibiina n’afumuula omumyukawe atwala Buganda, Mathias Mpuuga.   Kyagulanyi agamba nti Mpuuga yeenyigira mu bulyake ne yezza ensimbi obukadde 500 ezamuweebwa ng’akasiimo okuva mu palamenti ekimenya amateeka sso nga n’ekibiina bwe kyavaayo ne kimulagira azzeeyo ensimbi ezo […]

Abalimi B’Ebinazi e Buvuma Bakungaanye Okwetaba mu Lukungaana Lwa Bonna

Abalimi b’ebinazi mu bizinga by’e Buvuma abeegattira mu kibiina ky’obwegassi ekya Buvuma Palm Oil Growers Cooperative Society Limited bakungaanye mu bungi okubeerawo mu lukiiko lwa bonna olwa buli mwaka (AGM) nga luno lutudde Ku woofiisi yaabwe esangibwa e Maggyo mu ggombolola y’e Nairambi mu disitulikiti y’e Buvuma. RDC w’e Buvuma, Jackeline Kobusingye Birungi y’akuliddemu enteekateeka […]

Gavumenti Etongozza Okukuba Kkoolansi Oluguudo Lw’e Nakawuka

Bya Tonny Evans Ngabo Oluvannyuma lw’emyaka n’ebisiibo nga gavumenti esuubiza abantu b’e Nakawuka okukola oluguudo lwabwe okulukuba kkoolansi, kyaddaaki omulimu guno eguggyeko akawuuwo. Okutongoza okukuba oluguudo luno kkoolansi kukoleddwa Ssaabaminisita Nabbanja ng’omukolo gusitudde ebikonge omuli Minisita w’enguudo n’emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala, ababaka ba palamenti okuli owa disitulikiti y’e Wakiso omukyala, Betty Ethel Naluyima, ssaabakunzi […]

error: Content is protected !!