Wadde nga yafunye abantu mu kivvulu kye eky’Ebiseera ebyo ku Colline hotel e Mukono, King Saha yawaaliriziddwa okukaaba amaziga agatali ga ssanyu wabula ag’ennaku olw’ebyuma okuvumbeera.
Ekivvulu kino kyatandise ku ssaawa nga ziyise mu mukaaga ogw’ekiro ng’abategesi batetenkanya kino na kiri nga bigaanye. Wabula bano baafunye akadde akalungi olw’abadigize okubeera abakkakkamu ne babaleka ne batwala obudde naye nga tebaseguka.
Buli kiseera, ba kalabaalaba b’ekivvulu kino bakira bajja ne beetondera abaantu n’okubagumya nga bwe baabadde bakola buli kisoboka okulaba nga buli kimu kitereera olwo King Saha n’abayimbi abalala abaamuwerekeddeko basobole okubakuba endongo.
Nga zimaze okuyita mu ssaawa mukaaga ogw’ekiro, omuyimbi asooka yalinnye ku siteegi wakati mu kuvumbeera naye ng’eky’okukola tewaakyali abategesi balaba ekintu kiyiika!
Zaabadde teziri busa, ku ssaawa musanvu n’eddakiika ana mu nnya (1:44am) ez’ekiro, King Saha yalinnye ku siteegi. Nga yaakakubayo ennyimba nga bbiri, King Saha yatandise okucoomera ab’ebyuma olw’okumuwa emizindaalo emifu ng’agamba nti yabadde yeekaka nnyo ng’eddoboozi teriyitamu nga n’obulago bumuluma.
“Naye lwaki omuntu yanditegese ebyuma ekika kino ku mukolo gwa munne! Enjawulo abantu eribakomya wa, baluubirira kusiiga nze nziro? Ekirungi abantu bakimanyi nze okuyimba nkusobola. Oba Omuwooza w’akatale yabalabyemu n’abasasula bandabise! Muswadde, abantu bategedde nti eyakoze kino si nze naye omuteesiteesi,” ng’ayogera ebyo, Saha yatuuse n’okutonnyeza ezziga ng’alaba ekigenda mu maaso takikkiriza.
Ng’ebula essaawa ng’emu ekivvulu kiggwe, wakati mu kuyimirizaamu nga bwe bivaako ne batereeza nga beekwasa amasannyalaze wadde ng’ate baabadde ne jjenereeta, ebyuma byateredde era ennyimba ezaasembyeyo yaziyimbye bulungi nga ne vvayibu mu bawagizi eri mu bire.
Wakati ng’ayimba, Spice Diana yalinnye ku siteegi ne basanyusiza wamu abantu era enduulu n’esaanikira ekifo. Saha mu ngeri y’okuloopa ab’ebyuma eri Spice Diana, yagambye nti;
“Munnange Spice weebale kumpa bbandi yo, naye omutegesi ebyuma yategese bivundu! Abantu bwe batyo bwe badibaga bbizinensi za bannaabwe.”
Spice yasiimye Bannamukono olw’obuwaagizi bwe baabadde Saha ne batakitwala ng’ekikulu wadde ebyuma byabadde si birungi nga bwe bandisuubidde.
Ne Spice yabawaaddemu obuyimba kamu bubiri n’amala n’abasiibula akazindaalo n’akaddiza Saha n’abongerayo.
Tom Dee Ug naye yayimbye ng’ono yabadde akyasaanyusa aabaantu ebyuma ne bivaako era ennyumba ezaasembyeyo yaziyimbye tekuli ndongo ng’akuba kapera n’amala n’ayitamu.
King Micheal, Mikie Wine ne Rahmah Pinky nabo baasanyusizza abantu, Baza Baza n’abalala.
Saha Bannamukono yabannyuse ku ssaawa mwenda n’eddakiika 16 (3:16am) ng’obudde bukedde.