Naluwemba ataddeko mmasiki ng'ali mu kaguli ka kkooti.

Omuwandiisi wa Kkooti Ya Kisekwa Aggyiddwako Ogw’okutta Omukulu W’ekika Ky’Endiga

0 minutes, 44 seconds Read

Eyali kkalaani wa kkooti ya Buganda eya Kisekwa Milly Naluwemba yeggyeeredde, omuwaabi wa gavumenti mu musango gw’okutta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga Eng. Daniel Bbosa, bw’amuggyeko omusango.

Naluwemba (46) ayimbuddwa mu kiseera nga bbo banne bwe babadde bavunaanibwa basindikiddwa mu kkooti enkulu okuwerennemba n’omusango gw’okutemula Ying. Bbosa.

Naluwemba wakati nga ky’aggye ayimbulwe.

Naluwemba abadde avunaanibwa ne Noah Luggya (21) agambibwa nti ye kennyini ye yanyiga emmanduso n’akuba Ying. Bbosa amasasi agaamuggya mu budde, Harriet Nakiguli, Joseph Nakabaale ne Ezra Mayanja ssaako agambibwa okuluka olukwe olw’obutemu luno, Tabula Bbosa ng’ono yali awerennemba n’omugenzi ku kifo ky’omukulu w’ekika ky’endiga.

Tabula eyasooka okudduka ne yeekukuma oluvannyuma yakwatibwa n’agattibwa ku basibe abasooka okukwatibwa era bwe bavunaanibwa omusango gwe gumu.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!