Kitalo! Omukulu W’ekika Omulala Afudde! Emiranga N’okwaziirana

Abaganda nate baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika omulala, Omutaka Luwonko Mbale Zamuwanga James, omukulu w’ekika ky’Ekiwere.  Omutaka Luwonko abadde mutuuze ku kyalo Kigombya mu divizoni y’e Mukono mu munisipaali y’e Mukono. Kigambibwa nti Omutaka yafiira mu ddwaliro ly’e Kawolo mu kibuga ky’e Lugazi ennaku 12 eziyise. Gibadde miranga na kwaziirana ku kkanisa […]

Obwakabaka Bwa Buganda Bukungubagidde Mutabani wa Wavamunno Eyafiiridde e Thailand

Joe Kayima Wavamunno, mutabani w’omugagga Prof. Gordon Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand n’afa aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe e Nakwero. Obwakabaka bwa Buganda bisinzidde mu kuziika kuno ne busaasira Prof. Wavamunno olw’okufiirwa mutabani we ono omukulu Joe Kayima Wavamunno. Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abutisse Omumyuka we Owookubiri Oweek. […]

Nnaabagereka Akunze Bannayuganda Okubeera N’obutubulamu

Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda akunze Bannayuganda okwettanira enkola ey’obutubulamu omuli okubeera n’empisa, obwetowaze, obuyonjo, amazima, obuvunaanyizibwa, obwenkanya n’ebirala. Omukolo guno ogubadde ogw’ekitiibwa guyindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala mu Kampala mu kiro ekikeesezza ku Lwomuk aaga nga gwetabiddwako abakukunavu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda ne mu gavumenti eya wakati. Minisita w’ekikula ky’abantu, […]

Ab’e Buikwe Batutte Amakula ga Kabaka

Omumyuuka w’ekitongole kya bulungibwansi n’obulambuzi atwala amagombolola okuli Buikwe, Ngogwe, Nyenga, Najjembe ne Kawolo era nga ye ssentebe Nkokonjeru Town Council, Ssentongo Ssali Kezaala akunze Abaganda n’abantu abawangaalira mu Buganda okuva mu tulo batandike okukola naddala ebyo ebiba bibalagiddwa mu nteekateeka ya bulungibwansi. Ssentongo agamba nti eno y’ekola yokka enaasobozesa Buganda okusobola okutuuka ku ntikko. […]

Gavumenti Eddizza Radio ya Kabaka Eya CBS Layisinsi Eyali Yagiggyibwako

Kyaddaaki gavumenti eddizza Radio ya Kabaka CBS layisinsi yaayo gye yali yayimiriza emyaka mingi egiyise okuva mu mwaka gwa 2009. Minister w’eby’amawulire ne ICT, Chris Baryomusi y’akwasizza Ssenkulu wa CBS Michael Kawooya Mwebe lalyisinsi eno. Omukolo guno gubadde ku kitebe kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya UCC ekisangibwa e Bugoloobi mu kibuga Kampala. Radio ya […]

Kabaka Alambudde ku B’e Kyotera ne Bafa Essanyu

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awadde abantu be ab’e Kyotera mu ssaza lye ery’e Buddu essanyu bw’asiimye n’abalambulako. Kabaka bano abatuseemu nga tebamanyi ne bamwekanga bwekanzi olwo buli omu n’ava ku by’abaddeko nga n’abamu kye babadde baaba nga tebakikkiriza. Magulunnyondo, Cuucu, Lukoma Nnantawetwa bano abadde abawuubirako nga n’abamu asiimye n’abasikako mu mikono, […]

Kabaka Alumbye Abataka Ab’Obusolya Abaagenda e Namibia Olw’okuwubisa Abantu ku Nnono N’Obuwangwa Bwa Buganda

| MENGO | KYAGGWE TV | Abaganda baagera nti Endiga “Endiga okusulika omutwe, tekigigaana kumanya mbuzi gye ziraze”, olugero luno lutuukira bulungi ku mbeera ebaddewo mu Buganda ebbanga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ly’amaze ng’obuamu bukosefu n’atuuka n’okutwalibwa ebweru w’eggwanga mu mawanga ag’enjawulo okuli n’e Namibia gye yafundikiridde olugendo lw’obujjanjabi. Kabaka ng’anaatera okukomawo […]

Eyali Ssaabawolereza wa Buganda Alabudde ku Nkwata Y’enkaayana ku Ttaka

BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Gavumenti erabuddwa nti singa teteeereza nkaayana wamu n’emivuyo egiyitiridde ku ttaka naddala mu bitundu bya Buganda, eby’enfuna by’eggwanga byolekedde okudobonkana.   Okulabula kuno kukoleddwa eyaliko Ssaabawolereza wa Buganda era nga yali Minisita w’essiga eddamuzi ne ssemateeka mu mwaka gwa 1977 munnamateeka Godfrey Sserunkuuma Lule. Sserukuuma […]

Essanyu mu Buganda, Kabaka Akomyewo ku Butaka Okuva e Namibia

Essanyu libugaanye Obuganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire amatuufu ag’okudda kwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ku butaka okuva e Namibia gy’amaze akabanga ng’awummuddemu. Okusinziira ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssaabasajja e Namibia era abadde mu mikono gy’abasawo abakugu ku nsonga z’obulamu bwe. Omutanda yayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes […]

Omuwagizi W’essaza Ly’e Kyaggwe Omulala Afudde!

| MUKONO | KYAGGWE TV | Nga Bannakyaggwe bakyakungubagira abawagizi ba ttiimu y’omupiira ey’essaza ababiri abafiira mu kabenje akaagwa ku Ssande e Butambala, ate omu ku babadde ku bitanda nga bataawa afudde. Afudde ye Mulwana abasinga gwe babadde bamanyi nga Musiraamu ng’ono abadde avuga bodaboda ku siteegi ya Sombe mu kibuga Mukono wakati. Abawagizi abasooka […]

error: Content is protected !!