Abasuubuzi N’abatuuze e Buvuma Balaajanye ku Kkubo Eriva ku Kidyeri e Kirongo

Ng’enkuba yaakatandika okutonnya mu bizinga by’e Buvuma, amakubo gaatandise dda okukaabya abaayo akayirigombe. Erimu ku gafuuse ekizibu, lye liva ku mwalo e Kirongo mu ggombolola y’e Busamuzi ewagoba ekidyeri ekisaabaza abantu okuva ku lukalu e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe nga lino liyitamu okugenda e Kasaali mu ggombolola y’e Nairambi nga lye limu ku matono […]

Embeera Y’essomero lya St. Peters Ekaabya Amaziga-Abayizi Basomera mu Bisiikirize Bya Miti

Mu kaweefube w’okwagala okuyamba abaana mu bizinga by’e Buvuma okufuna omukisa ogusomako, omusumba w’ekkanisa atwala ebizinga by’e Buvuma Rev. Brian Kiggundu yatandika essomero lya St. Peters Nursery and Primary School erisangibwa ku kitebe ky’obusumba e Walwanda mu Buvuma tawuni kkanso. Wabula embeera essomero lino gye lirimu mu kiseera kino yetaaga ssaala oba tugambe nti eyungula […]

Kibuyaga Agoyezza Ebyalo e Buvuma-Asudde Amayumba N’okugoya Ebirime

Nnamutikwa w’enkuba eyafudembye mu kiro ng’ajjuddemu kibuyaga amanyiddwa ng’ensoke n’omuzira agoyezza ebyalo munaana ebisangibwa mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma mu bizinga. Abamu ku batuuze abakoseddwa okuli Edmond Kakunguru, Victoria Logose n’abalala batunnyonnyodde engeri gye baakoseddwamu okuli amayumba agaabambuseeko obusolya, ebirime omuli ebitooke, muwogo, lumonde n’omuceere kibuyaga bye yagoyezza. Logose atulambuzza engeri amazzi […]

RDC ne DPC Balabudde Abaneekiika mu Nteekateeka Y’okugema Yellow Fever

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Buvuma (RDC), Jackeline Kobusingye Birungi  ng’ali wamu n’aduumira poliisi mu bizinga by’e Buvuma Micheal Bagoole balabudde okuggalira n’okukangavvula abantu bonna abaneekiika mu nteekateeka ya gavumenti ey’okugema omusujja gw’enkaka.  Okugema omusujja gw’enkaka (Yellow Fever) kwatandise ku Lwokubiri nga April 2 nga kugenda kutambula okutuuka nga April 8, nga kutambudde mu […]

Abalimi B’Ebinazi e Buvuma Bakungaanye Okwetaba mu Lukungaana Lwa Bonna

Abalimi b’ebinazi mu bizinga by’e Buvuma abeegattira mu kibiina ky’obwegassi ekya Buvuma Palm Oil Growers Cooperative Society Limited bakungaanye mu bungi okubeerawo mu lukiiko lwa bonna olwa buli mwaka (AGM) nga luno lutudde Ku woofiisi yaabwe esangibwa e Maggyo mu ggombolola y’e Nairambi mu disitulikiti y’e Buvuma. RDC w’e Buvuma, Jackeline Kobusingye Birungi y’akuliddemu enteekateeka […]

Bataano Ababadde Bava ku Kabaga mu Ssabo Bagudde mu Nnyanja ne Bafa

Abantu bataano ababadde basaabalira mu lyato ku nnyanja Nalubaale mu bizinga by’e Buvuma nga bava ku kabaga ak’okwekulisa okuyita mu mwaka n’okwewonga olw’omwaka omupya bagudde mu nnyanja ne bafa. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto, 14 kw’abo bannyuluddwa mu nnyanja ne baddusibwa mu ddwaliro ly’e Bugaya gye bali mu kufuna […]

Kibuyaga asse 2 n’okulumya abalala-amayumba 500 agatikkuddeko obusolya

Ekikangabwa kyabuutikidde abatuuze abawangaalira mu bizinga by’e Buvuma abavubi babiri bwe baakubiddwa kibuyaga nga bagenze e buziba mu nnyanja okuvuba. Kibuyaga ono ow’amaanyi abalunyanja gwe bayita ensoke yakubye ebizinga eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Buvuma abaayo n’abaleka nga bafumbya miyagi. Kigambibwa nti aliko abavubi babiri be yasse nga bano yabasanze buziba mu nnyanja nga bali mu […]

Buganda Parliamentary Caucus Members Task National Water to Address Water Scarcity Challenges in Buganda

The Members of the National Resistance Movement (NRM) under the Buganda Parliamentary Caucus have tasked the National Water and Sewerage Corporation (NWSC) to address water scarcity challenges in their constituencies. The MPs reported that they lack services of National Water in some of their constituencies whereas others have stalled water projects, something which negatively depicts […]

error: Content is protected !!