Kabaka Alumbye Abataka Ab’Obusolya Abaagenda e Namibia Olw’okuwubisa Abantu ku Nnono N’Obuwangwa Bwa Buganda

| MENGO | KYAGGWE TV | Abaganda baagera nti Endiga “Endiga okusulika omutwe, tekigigaana kumanya mbuzi gye ziraze”, olugero luno lutuukira bulungi ku mbeera ebaddewo mu Buganda ebbanga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ly’amaze ng’obuamu bukosefu n’atuuka n’okutwalibwa ebweru w’eggwanga mu mawanga ag’enjawulo okuli n’e Namibia gye yafundikiridde olugendo lw’obujjanjabi. Kabaka ng’anaatera okukomawo […]

Nja Kukomawo ku Butaka Mu Bbanga Eritali Ddene-Kabaka Ayogeddeko Eri Obuganda

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayogeddeko eri Obuganda mu ddoboozi ery’omwanguka era eriggumidde. Beene ng’asinzidde Namibia gye yatwalibwa okuwummulako n’okujjanjabibwa agambye nti embeera y’obulamu bwe egenda etereera era asuubira okudda ku butaka mu bbanga eritali lya wala. Yeebazizza Obuganda olw’essaala zonna ezimuweerezebwa n’obutaggwamu ssuubi wakati mu kusomoozebwa okwamaanyi. #BugandaUpdates2024

Katikkiro Alabudde Bannabyabufuzi Ku By’obufuzi Ebitaliimu Buntubulamu

“Eby’obufuzi ebitaliimu buntubulamu tebisobola kuzimba Uganda,” Katikkiro. Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga azzeemu okukubiriza bannabyafuzi okubeera abakkakkamu, okussiŋŋanamu ekitiibwa, okuwuliziganya n’okusonyiwagana nga lwe bajja okusobola okugatta ku ggwanga lyabwe omutindo, okugasa n’okuba ab’enkizo. Bino bibadde mu bubaka Katikkiro Mayiga bw’atisse omumyuka we Owookubiri, Oweek. Robert Nsibirwa ku mukolo Oweek. Mathias Mpuuga kwe yeebalizza Katonda […]

Katikkiro Mayiga Urges Luweero Residents to Stop Lamenting Over NRA War

BY KYAGGWE TV | LUWEERO | The Katikkiro of Buganda Kingdom, Charles Peter Mayiga has asked residents of Greater Luweero districts to stop lamenting over the National Resistance Army (NRA) War. Luweero and Nakaseke districts were the epicenters of the NRA war of 1981-1986. However, 38 years after the war, several veterans and residents are […]

Gavumenti Y’e Namibia Ekakasizza ku Kubeera kwa Kabaka e Namibia-Afuna Bujjanjabi si Musibe

Oluvannyuma lw’Abaganda ab’enjawulo okuvaayo ne batandika okwemulugunyiza abakulu mu nsi y’e Namibia nga bagamba nga bwe bateebereza okuba nga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ali mu busibe e Namibia, gavumenti yaayo evuddeyo n’etangaaza. Gavumenti y’e Namibia okuyita mu Ambasadda Martin Andjaba mu kiwandiiko kye yawandiise nga May 24, 2024, ng’adda mu kwebuuza oba […]

Fresh Details Merge in the Murder of Ndiga Clan Leader

Investigations about the murder of Ndiga clan leader Lwomwa Eng. Daniel Bbosa show that his killers were hired by his namesake and nemesis Lujja Bbosa Tabula. Information gathered by the police from Mengo, the seat of Buganda Kingdom shows that Tabula installed himself as the ‘legitimate’ leader of the Ndiga Clan in 2021 but the […]

Makerere University Egguddewo Sir Edward Muteesa II Museum

Yunivasite y’e Makerere ng’ekolera wamu n’Obwakabaka bwa Buganda ezimbye ekkaddiyizo lya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II nga lituumiddwa Sir Edward Muteesa II Museum. Ekkaddiyizo lino ligguddwawo Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga olwa leero ku Ssetendekero wa ono mu kibuga Kampala. Ekifo ewateereddwa ekkadiyizo lino, Ssekabaka Muteesa II mwe yasulanga mu biseera we yasomera e Makerere, era […]

Kabaka Alambudde Omulimu Gw’okuzzaawo Amasiro G’e Kasubi

Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi okulaba w’e gutuuse. Omuteregga asiimye ebikolebwa n’agamba nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi. Mu masiro  g’e Kasubi we wasangibwa ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga ng’eno Bassekabaka ba Buganda abana abasembayo mwe baaterekebwa. Amasiro gano abatamanyangamba baagateekera omuliro nga March 17, 2010 nga […]

Katikkiro Awabudde Gavumenti Okuteeka Enkizo ku By’obulimi N’obulunzi

Katikkiro wa Uganda, Charles Peter Mayiga alambudde ebifo eby’enjawulo ewali okunoonyereza n’okugatta omutindo ku birimibwa n’okulunda mu ggwanga wansi w’ekitongole kya National Agricultural Research Organisation (NARO) nga kino kyatta omukago n’Obwakaka bwa Buganda okulaba ng’ebyo ebikolebwa mu bifo bino eby’enjawulo bisaasaanyisibwa mu bantu ba Kabaka okusingira ddala abavubuka mu masaza ag’enjawulo. Mu bifo Katikkiro by’alambudde […]

error: Content is protected !!