Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga avuddeyo ku ky’abasirikale ba poliisi okusiwuuka empisa ne bakuba omukulembeze wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine akakebe k’omukka ogubalagala (ttiya ggaasi) ku kugulu n’alumizibwa.
Katikkiro asabye abakuuma ddembe bulijjo okukola emirimu gyabwe mu bukkakkamu kubanga bwe bataba beegendereza bayinza okutuusa obulabe obw’amaanyi ku bannansi ate ne kireetera ensi emitawaana.
Katikkiro era asaasidde ne ku Kyagulanyi olw’okutuuka ku buvune buno.
Obubaka bwa Katikkiro abuyisizza ku kibanja kye eky’omukutu gu mugattabantu ogwa FaceBook olw’eggulo lwa leero.
Obubaka bwa Katikkiro;
“Nsaasira Hon. Robert Kyagulanyi, omukulembeze wa NUP, olw’okukubwa akakebe k’omukka ogubalagala ku kugulu.
Nkubirizza abakuuma ddembe okukola emirimu gyabwe mu bukakkamu, kubanga bwe bataba beegendereza bayinza okutuusa obulabe obw’amaanyi ku bannansi ate n’ekireetera Ensi emitawana.”
Ate eyaliko Katikkiro wa Buganda, Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere nga Kyagulanyi tannasiibulwa okuva mu ddwaliro e Nsambya, yawuubyeyo kko olubu lw’ebigere.
Katikkiro okuvaayo, yeegasse ku bakulembeze abalala okuli eyaliko ssenkaggale wa FDC, Dr. Kiza Besigye n’eyaliko akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba nabo abaasaasidde ku mulwadde.
Besigye naye yavumiridde ekikolwa kya poliisi eky’okutulugunyanga abavuganya gavumenti ewatali kugoberera mateeka wadde ng’ate omulimu gwa poliisi omukulu gwe gw’okukwasisa amateeka.