Parish Chief N’abalala Babiri Basuze Ku Poliisi Lwa Kubulakanya za PDM

RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi alagidde poliisi n’ekwata ‘parish chief’ n’abalala babiri ng’entabwe eva ku kubulankanya sente za PDM. Bano okukwatibwa kiddiridde abatuuze mu muluka gw’e Nakabugo mu ggombolola ya Wakiso-Mumyuka okubalumiriza nga bwe baabawa ssente za PDM ez’ebitundu kyokka ate ne babasaayiningisa ssente ndala ezisinga kw’ezo ze baafuna ekiggye RDC Mbabazi mu mbeera n’alagira […]

Omubaka wa Paapa Alabudde Bannaddiini Abayingiridde Eby’obufuzi Ebyawulayawula mu Bantu

Omubaka wa Paapa eyawummula, Ssaabasumba Augustine Kasujja  asoomoozezza bannaddiini abamu abatandise okuva ku mulamwa gw’okubuulira enjiri ya Katonda agatta abantu n’okubalyowa emyoyo ssaako okubakulaakulanya nga kati bano batandise kusimba makanda ku by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu ky’agamba nti si kituufu. Ssaabasumba bino yabituuseeko bwe yabadde akulembeddemu ekitambiro kya mmisa e Kisubi ku kigo kya Sisters of […]

Bannawakiso Bakyalidde Ssaabasumba Ssemogerere ne Bamusaba Emikisa

Abakulembeze abeegatira mu kibiina kya Tukolerewamu Community Development Agency ekisangibwa mu Busiro South nga bakulembeddwamu sipiika wa disitulikiti y’e Wakiso Nashif Najja baakyaliddeko Ssaabasumba wa Klezia atwala essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere mu makka ge e Lubaga ne bamukulisa okuyita mu nnaku z’Amazaalibwa ga Yezu n’okuyita mu mwaka 2024 nga mulamu. Najja nga y’omu […]

Omuliro e Namirembe! Bp. Banja Agobye Rev. Mereewooma Abakulisitaayo ne Batabuka!

Abakulisitaayo abasabira mu kkanisa ya St. John’s Church of Uganda e Kitegomba mu Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso baabuuse enswa ne beesala akajegere ne boogerera omulabirizi w’e Namirembe, Bp. Moses Banja ebisongovu ng’entabwe eva ku kya Kitaffe mu Katonda kusalawo kugoba musumba waabwe nga tannabugumya na mbooge mu kifo. Rev. Abel Sserwanja Mereewooma yaali wakati […]

Bwanika Acoomedde Abasimbira Ekkuuli Enteekateeka Za Gavumenti

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika acoomedde abatuuze ku mwalo gw’e Gulwe mu ggombolola y’e Bussi ababadde bakyakalambidde nga bagaanye okukkiriza omwalo guno okuzimbibwako ekifo awanatuukirwa ekidyeri. Okusinziira ku ssentebe Bwanika, gavumenti ng’eruubirira okutumbula eby’entambula wakati w’ekizinga kino ng’ekigatta ku lukalu, yabawa ekidyeri wadde ng’ate eby’embi waliwo abantu abasimbidde enteekateeka eno ekkuuli […]

Ab’akakiiko K’eddembe Ly’obuntu Bavuddeyo Ku Tteeka Erireetebwa Palamenti Erikwata Ku By’okulya N’okunywa

Bya Tonny Evans Ngabo Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso kawagidde ebbago eriri mu bubage nga lino ligendereddwamu okulaba nga Bannayuganda babeera n’eddembe ku mmere n’eby’okunywa erimanyiddwa nga Food and Nutritional Bill 2024. Mu kiseera kino, omubaka wa palamenti oqa Kigulu South Milton Muwuma yatandika dda okwebuuza ku Bannayuganda ku tteeka erigendereddwamu okusitula omutindo […]

Disitulikiti Y’e Wakiso Etandise ku Nteekateeka Z’okukulaakulanya Omwalo Gw’e Bugiri

Bya Tonny Evans Ngabo Disitulikiti y’e Wakiso etandise okukola ku nteekateeka z’okukulaakulanya  omwalo gw’e Bugiri ogusangibwa mu ttawuni kkanso y’e Katabi mu kibuga ky’Entebbe. Abakulu okuva ku disitulikiti we batuukidde okuvaayo ng’ettaka lyabwe kyenkana  linaatera okugwawo  nga litwalibwa bakyalakimpadde abaatandika edda  okwegabirako ppoloti ne beefuniramu emusimbi. Mother Mary Kevin Kearney: The Story Behind the Total […]

error: Content is protected !!