Ababadde Bagenda Okubala Abantu Bagudde ku Kabenje-Omu Amenyese Okugulu

BYA TONNY EVANS NGABO Abantu babiri be bapooca n’ebiwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje bwe baabadde bakedde okugenda mu bifo gye baagabiddwa okukolera. Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano, ekyatuumiddwa Census Night. Kyategeerekese nga bano baatomeddwa mmotoka ekika kya Canter etaategeerekese nnamba  bwe yayambalaganye ne lukululana  okukakana nga ebalubye ku mabbali g’ekubo gye baabadde batambulira […]

Klezia Enoonya 5.5bn Okuzimba Ebizimbe Bibiri Ebya Namagunga P/S Kitende

BYA TONNY EVANS NGABO Klezia eri ku kaweefube wa kunoonya obuwumbi bw’ensimbi za Uganda butaano n’ekitundu okumaliriza omulimu gw’okuzimba essomero lya Namagunga Boarding and Primary School ettabi ly’e Kitende mu disitulikiti y’e Wakiso. Mu kutongoza omulimu guno e Kitende ku Ssande, Sr. Mary Assumpta Babirye omukulu w’essomero yagambye nti oluvannyuma lw’okuwummula ng’omukulu w’essomero li nnansangwa […]

Abakulembeze e Wakiso Basabye Pulezidenti Museveni Okuwuliriza Okusaba Kw’abantu ku Ky’abantu Abaasibibwa Olw’eby’obufuzi

Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuviira ddala mu kulonda okwaliwo mu mwaka gwa 2021 bazzenga basaba omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okuyimbula abantu bonna abaasibibwa olw’eby’obufuzi. Wabula nga bano bakulungudde mu makomera emyaka egisoba mw’esatu nga n’abantu baabwe babonaabonaabona ebitagambika omuli abaana abaava mu masomero nga n’abamu eky’okulya kibeekubya mpi, okusaba kwabwe Pulezidenti Museveni ne gye […]

Gavumenti Etongozza Okukuba Kkoolansi Oluguudo Lw’e Nakawuka

Bya Tonny Evans Ngabo Oluvannyuma lw’emyaka n’ebisiibo nga gavumenti esuubiza abantu b’e Nakawuka okukola oluguudo lwabwe okulukuba kkoolansi, kyaddaaki omulimu guno eguggyeko akawuuwo. Okutongoza okukuba oluguudo luno kkoolansi kukoleddwa Ssaabaminisita Nabbanja ng’omukolo gusitudde ebikonge omuli Minisita w’enguudo n’emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala, ababaka ba palamenti okuli owa disitulikiti y’e Wakiso omukyala, Betty Ethel Naluyima, ssaabakunzi […]

Akakiiko K’eddembe Ly’obuntu Kasitukiddemu Olw’amakampuni G’Abachina Agayasa Amayinja Agakosa Abantu

Abakakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso kasitukiddemu oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu gye kali nga beemulugunya ku makampuni agayasa amayinja ge bagamba nti gabakosezza mu ngeri ezitali zimu omuli n’okukosa obulamu bwabwe kyokka nga ne bwe beekubira enduulu mu be kikwatako teri kikolebwawo. Akakiiko kano okutuuka okuvaayo kiddiridde abatuuze ku byalo bisatu okuli Busawuli, Buteregga […]

Abasajja Ab’Advent Bajjumbidde Okusaba Mwe Babajjukirizza Obuvunaanyizibwa Bwabwe

Bya Abu Batuusa Abasajja ab’Advent basabidwa okuzuukuka bave mu tulo kubanga abakyala bababyiseeko nga kati be beetise obuvunaanyizibwa bwabwe. Bino bibadde mu bubaka bw’omusumba David Mpande nga y’akulembera abasajja mu Central Uganda Conference mu kusinza okwenjawulo okubaddemu abasajja bokka nga basobye mu 500 okuva mu Kampala Zone ng’era bakungaanidde ku Wakisha Recreation Centre e Wakiso. Omusumba […]

Abakulembeze b’e Nansana Batongozza Bulungibwansi mwe Bagenda Okuyita Okweyonja

Bya Abu Batuusa Abakulembezze ba Nansana Division nga bakulembedwamu Mmeeya Ssaalongo Joseph Matovu ne bakkansala okuva ku mitendera egy’enjawulo baakoze bulungibwansi mu bitundu okuli Lugoba, Kazo n’ebitundu ebirala ebirinanyeewo mwe baayise okulongoosa ebifo by’olukale omuli obutale. Mmeeya Matovu yasinzidde wano n’asaba abantu okwenyigira mu kukola bulungibwansi naddala mu kiseera kino ng’Obwakabaka bwa Buganda bweteekerateekera okukuza […]

Abaana B’amasomero Beenyigidde mu Kuyonja Obutale e Gganda mu Wakiso

Bya Abu Batuusa Abayizi b’amasomero nga bali wamu n’abakulembeze ssaako abatuuze b’e Gganda mu disitulikiti y’e Wakiso bakoze bulungi bwa nsi mwe bayise okulongoosa obutale obw’enjawulo. Okulongoosa kuno baakukoze ku Lwokutaano ne beegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna. Abamu ku bakyala abeetabye mu kulongoosa, baasabye gavument okulowooza ku ky’okukendeeza ku musolo ogubali […]

error: Content is protected !!