Abakulu B’amasomero Balabuddwa Obutakemebwa Kumma Bayizi Bigezo

Bya Wilberforce Kawere Ng’abayizi ba S.4 olwa leero batandise okukola ebigezo eby’akamalirizo okwetoloola eggwanga, wofiisi y’omubaka wa gavumenti atuula e Mukono erabudde abaddukanya amasomero obutetantala kugaana muyizi yenna kutuula bigezo ng’ensonga eweebwa y’e y’okubanjibwa ebisale by’essomero. Amyuka omubaka wa gavumenti atuula mu kibuga Mukono era atwala eby’okwerinda mu kitundu kino Rhoda Tiitwe Kagaaga ategeezezza nti […]

Sheebah Ayongedde Okufukamiza Abasajja Abaali Bamwelijjako!

Sheebah Karungi, Maama Kalimunda, Queen Karma ng’abangi bwe bamuyita yayongedde okufukamiza abelenzi ba kuno abaali beemanyi eryanyi mu kuyimba bw’akubye show ezimenye n’emiti mu lonki ye eya Neeyanzizza. Wadde ng’ali lubuto, ng’era okwongera okusomooza ababadde bamuwakanya nti oba tali lubuto yaluyisizza na bweru, abantu baakubyeko mu bifo bye yategekeddemu ekivvulu kino okuli Lugogo Cricket Oval, […]

Poliisi Ekutte Aba Bodaboda lwa Kukuba Ddereeva wa Ttakisi ne Kkondakita we

Ddereeva wa ttakisi ne kkondakita we baasimattuse okuttibwa abavuzi ba bodaboda bwe baabaguddeko ekiyiifuyiifu ne babakuba ne babaleka mu kkubiro. Norman Kagame omuvuzi wa ttakisi nnamba UAY 458V ne ddereeva we Sadat Walakira be bagudde ku kibabu aba bodaboda bwe babakubye ne babayuliza n’engoye nga poliisi y’ebabataasizzaako. Abazirakisa balabye aba bodaboda buli ava gy’ava y’asimba […]

Aba UPDF Eby’okulwanyisa Envuba Embi Baabivaako Badda mu Kuvuba-MP Migadde

Omubaka wa palamenti akiikirira ebizinga by’e Buvuma, Robert Migadde Ndigwa akawangamudde bw’ategeezezza eggwanga nti abasirikale b’eggye lya UPDF abaasindikibwa ku nnyanja okulwanyisa envuba emenya amateeka, ogwabasindisaayo baaguvaako dda kati bennyini be badda mu kuvuba n’okusuubula eby’ennyanja. Migadde agamba nti eby’embi kwe kuba nti bbo Bannayuganda abawangaalira mu bizinga abaali bayimirizaawo obulamu bwabwe ku nnyanja nga […]

Aba UPDF Abalwanyisa Envuba Embi Baswazizza Abakulembeze B’e Busoga

Waabaddewo katemba atali musasulire okuva mu bakulembeze n’abatuuze abakola ogw’obuvubi ku nnyanja Nalubaale ku mwalo gw’e Lwanika mu ggombolola y’e Bukatuube mu disitulikiti y’e Mayuge abajaasi ba UPDF abakola ogw’okulwanyisa envuba emenya amateeka bwe baaleese obujulizi mu maaso g’abakulembeze abaabadde bawolereza abantu baabwe okukwatibwa n’okutulugunyizibwa nga tebalina musango. Kino kyaddiridde abakulembeze ba NRM nga bakulembeddwa […]

Gavumenti Be Yaggyako Ettaka N’eriwa Aba BIDCO Okusimbako Ebinazi nga Tebasasuddwa Banyiivu-Basisinkanye Ababakaba ba Palamenti

Emyaka gigenda mw’ena bukyanga gavumenti okuyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kulima ebinazi mu ggwanga ekya National Oil Palm Project (NOPP) etwale ettaka ly’abatuuze mu byalo eby’enjawulo e Buvuma n’eriwa yinvesita wa BIDCO n’asenda emmere yaabwe n’ennyumba mwe baasulanga nga tebannaliyirirwa. Bano bagamba nti mu bbanga lino bayise mu kubonaabona okutagambibwa omuli okubulwa ew’okusula nga bali […]

Akasattiro ku Disitulikiti: Omuwendo Gw’abalwadde ba MPOX Gulinnye, Baweze 8

Bya Tony Evans Ngabo Wakiso | Kyaggwe TV | Disitulikiti y’e Wakiso eri mu kusattira olw’omuwendo gw’abalwadde ba Monkey Pox (MPOX) ogweyongera okulinnya nga kati gutuuse ku bantu munaana okuva ku bana ababaddewo.  Okusinziira ku minisitule y’eby’obulamu, Wakiso y’e disitulikiti ekyasinze omuwendo gw’abalwadde ba MPOX mu Uganda yonna ng’eddirirwa Kampala erina abalwadde mukaaga egobererwa disitulikiti […]

Obwakabaka Bwa Buganda Bukungubagidde Mutabani wa Wavamunno Eyafiiridde e Thailand

Joe Kayima Wavamunno, mutabani w’omugagga Prof. Gordon Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand n’afa aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe e Nakwero. Obwakabaka bwa Buganda bisinzidde mu kuziika kuno ne busaasira Prof. Wavamunno olw’okufiirwa mutabani we ono omukulu Joe Kayima Wavamunno. Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abutisse Omumyuka we Owookubiri Oweek. […]

Akasattiro ku Poliisi: Omutuuze Afiiridde mu Kaduukulu

Waabaddewo akasattiro ku poliisi abasirikale bwe baagudde ku musibe ng’afiiridde mu kaduukulu. Hassan Kisuule omutuuze ku kyalo Naminya mu divizoni y’e Wakisi mu munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe y’agambibwa okweyimbamu ogwa kabugu ne yeetuga okukkakkana ng’eyiye efumba bavuunise. Kisuule yafiiridde mu kaduulu ka poliisi esangibwa mu Wakisi gye yatwaliddwa ku musango gw’okubba ebyuma […]

Kitalo! Bbebi Ow’omwaka Ogumu Ekijanjaalo Gwe Kyatuze Afudde!!!

Abatuuze ku kyalo Bajjo mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono baguddemu encukwe omwana ow’omwaka ogumu bw’amize ekijanjaalo ne kimutuga n’afa. Okusinziira ku maama w’omwana, Racheal Neluba, mutabaniwe Charlie Odongo yamira ekijanjaalo ku Lwomukaaga ku makya ne kimutuga n’amuddusa mu ddwaliro erimu e Seeta – Mukono wabula ng’olw’embeera ye, baawalirizibwa okumwongerayo mu ddwaliro e […]

error: Content is protected !!