Amaka Agakuuma Abaana Abatalina Mwasirizi Gaweereddwa Nsalessale

Bya Tonny Evans Ngabo Omuwendo gw’amaka  agakuumirwamu  abaana  abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi  bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde. Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo. Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e […]

Tewakyali Kiyinza Kulemesa Mbaga ya Kyabazinga-Dr. Muvawala

“Tuli basanyufu nnyo olwa Bannaffe okuva mu Bwakabaka bwa Buganda wamu n’abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala abatuwagidde mu bungi. Embaga ya Mwenemu yaakubeera ya kitiibwa nnyo era ya byafaayo,” Katuukiro Dr. Muvawala bwe yategeezezza.     Bya Tony Evans Ngabo Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala agumizza Abasoga ng’enteekateeka zonna bwe ziwedde ez’embaga y’omwaka eya […]

Abakristu mu Ssaza ly’e Lugazi Balamaze mu Bungi e Bulimu

Buli mwaka nga November 12, lwe lunaku omu ku Bajulizi ba Uganda, Ponsiano Ngondwe lwe yattibwa ng’era Abakristu okuva mu ssaza lya Klezia ery’e Lugazi lwe balamaga ku kiggwa ky’omujulizi ono e Bulimu. Essaza ly’e Lugazi likolebwa disitulikiti nnya okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma ng’Abakristu okuva mu bitundu eby’enjawulo eby’essaza beeyiye mu bungi e […]

Aba Scout ba St. Joseph Pilot School badduukiridde ba bbebi mu Nsambya Babies Home

Bya Lilian Nalubega  Abasikawutu bennyamidde olw’abakyala abazaala abaana kyokka ne babasuula ekibaviirako bangi okufa n’abo abalondebwa ne bakuzibwa abantu abatabalinaako luganda ne bakula nga tebalina mukwano gwa bazadde buli muntu gwe yandyetaaze. Abasikawutu bano bagamba nti omuntu yenna okukula obulungi aba asaana okusooka okuyonka ebbanga lye erisooka ery’emyaka ebiri nga bwe kirambikibwa obulungi abasawo era […]

Kitalo! Omuzira mu Bazira wa Radio CBS Afudde!

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa,  oluvannyuma lw’okufa kw’Omuzira mu Bazira owa Radio Y’obujjajja CBS FM. Kalema Kalikyejo ye Muzira mu Bazira owa Pulogulaamu Entanda ya Buganda eweerezebwa ku Radio CBS FM ng’ono ye w’omwaka 2006. Kalikyejo yafiiridde mu ddwaliro e Mukono nga abadde awangaalira ku kyalo Kayanja-Nnamataba ekisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono. Ku kyalo Kayanja kuno, ku […]

Fr. Kabenge Asabye Abagenda Okukola PLE Babakwase Katonda si Ssitaani

Ng’abayizi ba P.7 beeteekateeka okukola ebigezo byabwe ebya PLE ebinaatandika nga November 8 biggwe nga November 9, abazadde abatakkiririza mu Katonda baweereddwa amagezi ogukoma ku kusasulira abaana baabwe ebisale by’essomero babawe n’ebikozesebwa ebisigadde bamale babaveeko. Fr. Simon Peter Kabenge bano abawadde gaabuwa nti tebasaanidde kumala biseera mbu ate batwalira abaana baabwe obuti n’ebyawongo ebirala mbu […]

Bp. Kagodo akoze enkyukakyuka mu Basumba e Mukono

Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo yalangiridde enkyukakyuka mu basumba n’abaweereza abalala ab’ekkanisa mu bulabirizi bw’e Mukono. Enkyukakyuka zino omulabirizi yazirangiriridde mu kkanso y’obulabirizi ey’omulundi ogw’e 63 eyatudde mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna. Eno ye kkanso ya Bp. Kagodo ey’okubiri gy’akubirizza bukyanga atuuzibwa ng’omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano nga 25/2/2023 ng’ono yasikira Bp. James […]

Nambooze Asitukidde mu Bakaluba-Twagala District Service Commission!

Mu mbeera ya ‘bbwa ddene ligambwako nnyiniryo’, omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke aludde ddaani n’asitukira mu munnakibiina munne ekya National Unity Platform (NUP) ng’ono ye ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Dr. Rev. Peter Bakaluba Mukasa ng’amusaba mbagirawo ateekewo embeera esobozesa okulonda akakiiko akagaba emirimu. Nambooze ng’akulembeddemu abeekalakaasi abaabadde bakutte ebipande ebiraga obutali […]

Mbaziira Ow’eby’ettaka e Mukono Asuze mu Kkomera

Ofiisa omukulu mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono akwatiddwa n’aggalirwa ng’entabwe eva ku mivuyo mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono. Robert Mbaziira y’akwatiddwa ku biragiro bya minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja mu lukiiko lwa bbalaza lw’atuuzizza e Mukono ku kitebe kya disitulikiti. Mbaziira okukwatibwa kiddiridde okumala ebbanga ng’abantu ab’enjawulo bajja baamwemulugunyaako ku bigambibwa mbu y’omu ku bali […]

Bp. Kakooza atongozza Kasangalabi parish, eya 33 mu Lugazi diocese

Mu kaweefube w’okusembereza Abakrsitu obuweereza bwa Klezia, Omusumba w’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza agguddewo ekigo eky’amakumi asatu mw’ebisatu (33) mu ssaza lino. St. Anthony of Padua Kasangalabi kye kigo ekyagguddwawo ku Mmande ku lunaku Ugana kwe yafunira ameefuga. Kino kisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono mu disitulikiti y’e Mukono. Bp. Kakooza ekigo […]

error: Content is protected !!