Ekyabadde mu Kivvulu Kya David Lutalo mu Bifaananyi

  Omuyimbi w’ennyimba z’omukwano David Lutalo yajjuzza Colline Hotel e Mukono ku Lwomukaaga mu kivvulu kye yatuumye Nalongo concert. Biibino ebifaananyi 35 eby’enjawulo ebyabadde mu kivvulu kino. Lutalo yawerekeddwako abayimbi bangi ate ab’amaanyi omuli Mesach Ssemakula, Spice Diana, Betty Mpologoma, Coco Finger, Kapa Cat, Haruna Mubiru n’abalala bangi. David Lutalo Alaze Bw’asajjakudde, Ky’akoze e Mukono […]

David Lutalo Alaze Bw’asajjakudde, Ky’akoze e Mukono Kika!

Omuyimbi w’ennyimba z’omukwano David Lutalo ayongedde okweraga eryanyi oluvannyuma lw’okukuba Cricket Oval e Lugogo n’agifukamiza ate n’alumba n’e Mukono ku Colline Hotel n’akola kye kimu. Wadde Lutalo tali mu bayimbi abeesoma nga bwe bali ab’amaanyi era abeepikira ono oba oli mu battle, engeri gy’ayimba, ennyimba ze kumpi ezisoba mu 100, engeri buli luyimba gye lulinamu […]

Romano Valentino, Ssentebe w’ekyalo Nabuti eyakubiddwa Mutabaniwe Aziikiddwa mu Bitiibwa

Nnamungi w’omuntu yeeyiye mu kuziika abadde ssentebe w’ekyalo ky’e Nabuti ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono ng’ono akulungudde emyaka 37 bwe ddu nga y’ali mu mitambo gy’ekyalo kino nga ssentebe. Romano Valentino ng’afiiridde ku myaka 64 kigambibwa nti obulwadde obwamusse bwava ku nsambaggere n’okuvulungibwa mutabaniwe Monaco Valentino ow’emyaka 19 omwezi nga gumu […]

Maama Azadde Omwana N’amusuula mu Ttooyi Y’eddwaliro

Maama kalittima ali mu kunoonyezebwa poliisi oluvannyuma lw’okuzaala omwana n’amunyugunya wansi mu kaabuyonjo y’eddwaliro lya Mukono General Hospital. Abakyala ababadde bagenze okugemesa abaana baabwe ku ddwaliro lino bwe bagenze okwetaawuluza mu kaabuyonjo be bawulidde ng’omwana akaaba ne batemya ku basawo nabo abayise poliisi. Bino bibaddewo ku makya ga leero ku Lwokusatu September 20, 2023. We […]

Embaga y’ebyafaayo yiino-Omusajja bamuwooye ne hakki ze musanvu!

Ebyafaayo nga bwe bitaggwa mu nsi, omusajja wuuno akoze ebyafaayo olwaleero bwe bamuwooye ne bakyalabe musanvu be ddu. Ono yasoose kubanjula omu kw’omu ng’ababiri ku bano baaluganda omu yadda ku munne nga yabayanjulidde mu maka ga kitaabwe mu kwanjula era okwabadde okw’ebyafaayo. Bino bibadde ku kyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono ng’ab’eno bawuniikiridde […]

Ono Nsikonnene tawena-bamuwooye n’abakazi musanvu!

Ekyalo Namasengere mu Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono kiwuniikiridde omusajja Ssaalongo Habib Nkokonnene bw’atandise okuyisa ebivvulu ng’ayolekera omuziki ne bakyalabe musanvu b’agenda okuwoowebwa nabo. Omukolo guno guyindira ku kyalo Mugereka ekisangibwa mu ssaza ly’e Nakifuma, kinnya na mpindi n’ekyalo Namasengere kabwejumbira Nsikonnene kwe yazimba amaka ag’ebyafaayo mw’abeera ne bakyalabe omusanvu. Abantu abawerera ddala beesombye okubeerawo […]

Gravity Alabudde Abawagizi Abakyusakyusa Ennyimba ze ne Baziwemuliramu!

Omuyimbi Gravity Omutujju akooye abantu abamusibako eky’okubeera omuwemu era nti n’ennyimba ze ziwemula! Ono agamba nti ennyimba ze teziwemula ate naye kennyini tawemula wabula abamu ku bawagizi be bakola ensobi bwe badda ku nnyimba ze ne bazikyusakyusa ne baziggyamu amakulu amalala ate ne bakisiba ku ye mbu awemula, ky’agamba nti si kituufu. Omutujju Omukujjukujju nga […]

Maama W’omwana Wange Olwamukyawa N’anjokya Acid!

Eyali omusuubuzi w’eby’ennyanja omwatiikirivu mu bizinga by’e Koome mu disitulikiti y’e Mukono g’akaaba g’akomba oluvannyuma lw’omukazi gwe yazaalamu omwana n’amala n’amukyawa olw’obuyombi okumuyiira ‘acid’. Ssaalongo Yasin Lukwago (39) ye yeekokkola maama w’omwanawe Barbra Najjuka bwe baali babeera ku kizinga ky’e Ddamba mu ggombolola y’e Kkoome mu Mukono wabula bwe yamukya n’amulukira olukwe n’amuyiira ‘acid’. Lukwago […]

error: Content is protected !!