Ekisaawe ky’okuyimba kiguddemu ekikangabwa, omuyimbi Deo Mbaziira amanyiddwa ennyo nga Baby Deo Star bw’afiiridde mu Kabenje. Baby Deo afiiridde mu kabenje mu bitundu by’e Kyengera ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Masaka. Poliisi omulambo gwa Baby Deo egututte mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago ng’okunoonyereza ku kivuddeko akabenje Kano bwe kugenda mu maaso. Abayimbi bangi […]
Bya Tony Evans Ngabo Abatuuze okuva ku byalo bisatu okuli Bumera, Buteregga, Busawuli ne Kkongojje, mu gombolola ye Mende mu disitulikiti y’e Wakiso basobeddwa ekka ne mu kibira olwa kkampuni y’Abachina eyasa amayinja eya King Long gye bagamba nti ebamazeeko emirembe n’okukaluubiriza obulamu mu byalo kwe bawangaalira. Bano beemulugunya nti mu kwasa amayinja gano olw’okuba […]
Bya Tony Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Bwanika alaze okunyolwa ng’agamba nti bangi ku Bannayuganda tebaakyesiga pulogulaamu za gavumenti ekiviiriddeko ezimu ku pulogulaamu okukonziba ng’abantu balinga abaazizira. Ssentebe Bwanika anokoddeyo enteekateeka ya gavumenti mw’eyita okuwa abantu ebyuma ebyeyambisibwa mu kufukirira ebirime emaanyiddwaa nga ‘micro irrigation scheme’ ng’eno mu kiseera kino tennatambula […]
Katikkiro wa Uganda, Charles Peter Mayiga alambudde ebifo eby’enjawulo ewali okunoonyereza n’okugatta omutindo ku birimibwa n’okulunda mu ggwanga wansi w’ekitongole kya National Agricultural Research Organisation (NARO) nga kino kyatta omukago n’Obwakaka bwa Buganda okulaba ng’ebyo ebikolebwa mu bifo bino eby’enjawulo bisaasaanyisibwa mu bantu ba Kabaka okusingira ddala abavubuka mu masaza ag’enjawulo. Mu bifo Katikkiro by’alambudde […]
Bya Tony Evans Ngabo Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere ayambalidde abazadde abaami n’abasomesa abeegbulidde okukkira abaana abato ne babasobyako. Ssaabasumba agambye nti ekikolwa kino kiswaza nnyo ssi eri abokka abakikola ne ffamire zaabwe wabula n’eggwanga lyonna. Ssaabasumba okukangula ku ddoboozi abadde akulembeddemu ekitambiro ky’emmisa ey’okukuza olunaku lw’Omutukuvu Yowaana Maria Muzeeyi wamu […]
Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’abadde omukiise w’essaza ly’e Kyaggwe mu lukiiko lwa Buganda, Dr. Donald Ddamilira Muguluma. Dr. Muguluma ng’abadde mutuuze mu kibuga ky’e Mukono ku kyalo Nabuti okumpi n’essomero lya Seeta Junior School Mukono abadde musawo omutendeke ng’alina eddwaliro mu paaka e Mukono n’e Bweyogerere. Amawulire g’okufa kwa Dr. Muguluma gaafulumye […]
Story ya Insight Post UG Kkansala ku lukiiko lwa Mukono Central divizoni, Fred Kiyimba essanyu alina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’abatuuze okwekolamu omulimu ne bamusondera amannyo amazungu ne bamuwonya ekizibu ky’amalibu. Kiyimba amannyo gaamusondeddwa bammemba ku mukutu gwa WhatsApp ogumanyiddwa nga ‘Mukono Municipality for All’ ng’enteekateeka zino zaakulemberwamu omumyuka wa RDC w’e Mukono, Mike […]
Bya Wilberforce Kawere Abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Luweero bakyasobeddwa eka ne mu kibira olw’abalimi abakyabaziriridde ensimbi gavumenti ze yabawa eziri mu buwumbi obusoba mu bubiri okubayamba okugulamu ebyuma ebikozesebwa mu kufukirira ebirime. Okusinziira ku mumyuka w’akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Luweero, Henry Musisi, balina ensimbi eziri eyo mu buwumbi bubiri gavumenti […]
Abatuuze ku kyalo Myanzi ekisangibwa mu disitulikiti y’e Kassanda baguddemu encukwe ssemaka eyawasiza abakazi babiri mu nnyumba emu bwe yeesuddemu jjulume ne yeekumako omuliro n’asirikka. Ssemaka ono abadde muvubuka embulakalevu ng’ategeerekeseeko limu lya Frank ng’abadde atemera mu gy’obukulu 26. NCDC Develops New ECD Curriculum Ready for Rollout Next Year Abatuuze yavudde ku butakkanya wakati we […]
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo asoomoozezza Abakulisitaayo okukomya okutunula obutunuzi ng’abaweerezaa mu kkanisa bayita mu mbeera eziteeyagaza. Bp. Kagodo anokoddeyo ababuulizi abasula mu bifulukwa, ennyumba ezitonnya, abatalina mmere n’abamu ng’eby’okwambala n’okulabirira abantu ba ffamire zaabwe bibatambuza beeyogeza bokka n’agamba nti kino kikyamu nnyo naddala mu mulembe guno. Global Junior School Ushers Kids into […]
