Abantu ba Kabaka okuva mu bitundu bya Buganda ne Uganda eby’enjawulo beeyiye mu bungi mu Lubiri e Mengo mu kivvulu kya Leediyo y’Obwakabaka eya CBS ekya buli mwaka eky’Enkuuka Tobongoota. Bano bakulembeddwa abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda n’abalala okuva mu gavumenti eya wakati. Wadde ng’ebadde nnono ya buli mwaka Kabaka okwetaba […]
Bya Tonny Evans Ngabo Omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima baamuggye ku mudaala gw’abanoonya. Ono bba Ying. Tadeo Lugoloobi amukubye empeta wakati mu Lutikko e Lubaga mu kibuga kya Ssaabasajja Kabaka eky’e Kampala. Omubaka Naluyima ne bba Lugoloobi bakubye ebirayiro by’okwagalana okutuusa okufa lwe kulibaawukanya, okwagalana mu bwavu n’obugagga, […]
Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambudde ekifo ewategekeddwa Enkuuka ya CBS mu Lubiri e Mengo okulaba butya abategesi bwe bateekeddeteekedde abantu be. Kitegeerekese nga guno gubadde mulundi gwakubiri mu ssaabbiiti eno ng’Empologoma yeetegereza ekifo kino nga yasooka kulabikako ku Lwakuna. Enkuuka yaakubeera mu Lubiri e Mengo enkya nga December 31, 2023. […]
Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) leero basabidde omwoyo gwa Frank Ssenteza ng’ono ye yali omukuumi w’omukulembeze w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine agambibwa okutomerwa emmotoka y’amagye n’emutta mu kkampeyini z’obwa pulezidenti mu mwaka gwa 2020. Frank ssenteza yafiira Busega nga 27/12/2020 kkonvooyi ya Kyagulanyi bwe yali eva mu bitundu by’e […]
Bya Tonny Evans Ngabo Nga buli ennaku z’omwezi 27 mu mwezi gwa Ntenvu (December), bazzukulu ba Kalidinaali Emmanuel Wamala bakungaanira mu maka g’e Nsambya mu Makindye divizoni mu kibuga Kampala ku mukolo ogumanyiddwa nga Cardinal Wamala Family Day Out ng’ono ku mukolo guno w’abagabulira ekijjulo. Omukolo guno ogwabaddewo ku Lwokusatu gwatandise na kitambiro kya mmisa […]
Abatuuze abawangaalira ku mutala Nkokonjeru n’ebyalo ebirinanyeewo mu ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru baaguddemu encukwe bwe baafunye amawulire g’okufa kw’omu ku babadde abakulembeze ab’olulango mu kitundu. Ssaalongo Edward Ssamanya ng’ono ye yali meeya wa ttawuni kkanso y’e Nkokonjeru eyasookera ddala ye yafudde ekikutuko nga yasangiddwa mu buliri nga lwamugolodde dda. Ssamanya ayogerwako nga munnabyanjigiriza omwatiikirivu era […]
Omumyuka asooka owa Ssekiboobo David Kato Matovu atuuzizza n’okulayiza Omwami wa Kabaka ow’omuluka gw’e Mpoma II ogusangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono. Sylvia Kyowa Kyobe y’atuuziddwa wakati mu mukolo ogujjudde essanyu, emizira, engoma n’amazina nga bino bisaanikidde ebyalo okuli Mpoma n’e Kisowera. Omumyuka wa Ssekiboobo nga ye mwami wa Kabaka atwala […]
Bya Tonny Evans Ngabo Ng’abaana kye baggye bawummule okuva ku masomero ne badda ewaka mu luwummula luno olunene, poliisi evuddeyo n’erabula abazadde abalina abaana abakulu naye nga bali mu mizigo okugira nga bavudde ku by’okwegatta mu kifo ky’okubakabawaza. Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo ku Kasanje Police Station Ambrose Mugyenyi ategeezezza nti mu kiseera kino, […]
Wadde nga yafunye abantu mu kivvulu kye eky’Ebiseera ebyo ku Colline hotel e Mukono, King Saha yawaaliriziddwa okukaaba amaziga agatali ga ssanyu wabula ag’ennaku olw’ebyuma okuvumbeera. Ekivvulu kino kyatandise ku ssaawa nga ziyise mu mukaaga ogw’ekiro ng’abategesi batetenkanya kino na kiri nga bigaanye. Wabula bano baafunye akadde akalungi olw’abadigize okubeera abakkakkamu ne babaleka ne batwala […]
