Kitalo! Omukulu W’ekika Omulala Afudde! Emiranga N’okwaziirana

Abaganda nate baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika omulala, Omutaka Luwonko Mbale Zamuwanga James, omukulu w’ekika ky’Ekiwere.  Omutaka Luwonko abadde mutuuze ku kyalo Kigombya mu divizoni y’e Mukono mu munisipaali y’e Mukono. Kigambibwa nti Omutaka yafiira mu ddwaliro ly’e Kawolo mu kibuga ky’e Lugazi ennaku 12 eziyise. Gibadde miranga na kwaziirana ku kkanisa […]

Obwakabaka Bwa Buganda Bukungubagidde Mutabani wa Wavamunno Eyafiiridde e Thailand

Joe Kayima Wavamunno, mutabani w’omugagga Prof. Gordon Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand n’afa aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe e Nakwero. Obwakabaka bwa Buganda bisinzidde mu kuziika kuno ne busaasira Prof. Wavamunno olw’okufiirwa mutabani we ono omukulu Joe Kayima Wavamunno. Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abutisse Omumyuka we Owookubiri Oweek. […]

Nnaabagereka Akunze Bannayuganda Okubeera N’obutubulamu

Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda akunze Bannayuganda okwettanira enkola ey’obutubulamu omuli okubeera n’empisa, obwetowaze, obuyonjo, amazima, obuvunaanyizibwa, obwenkanya n’ebirala. Omukolo guno ogubadde ogw’ekitiibwa guyindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala mu Kampala mu kiro ekikeesezza ku Lwomuk aaga nga gwetabiddwako abakukunavu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda ne mu gavumenti eya wakati. Minisita w’ekikula ky’abantu, […]

Ab’e Buikwe Batutte Amakula ga Kabaka

Omumyuuka w’ekitongole kya bulungibwansi n’obulambuzi atwala amagombolola okuli Buikwe, Ngogwe, Nyenga, Najjembe ne Kawolo era nga ye ssentebe Nkokonjeru Town Council, Ssentongo Ssali Kezaala akunze Abaganda n’abantu abawangaalira mu Buganda okuva mu tulo batandike okukola naddala ebyo ebiba bibalagiddwa mu nteekateeka ya bulungibwansi. Ssentongo agamba nti eno y’ekola yokka enaasobozesa Buganda okusobola okutuuka ku ntikko. […]

Katikkiro Akunze Bannayuganda Okweyiwa e Namboole mu Bungi Okuwagira Cranes

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okweyiwa e Namboole mu bungi okuwagira ttiimu y’omupiira ey’e ggwanga, Uganda Cranes ng’esamba mu gw’okusunsulamu abanaasamba mu mpaka za Africa ez’akamalirizo. Uganda Cranes esamba Congo Brazaville akawungeezi ka leero (Monday) ku ssaawa emu nga gugenda kubeera ku bitaala. Katikkiro agamba nti omusambi ow’e 12 ye muwagizi ggwe […]

Katikkiro Mayiga Asabye Poliisi Okukola Emirimu mu Bukkkkamu-Asaasidde Ku Kyagulanyi

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga avuddeyo ku ky’abasirikale ba poliisi okusiwuuka empisa ne bakuba omukulembeze wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine akakebe k’omukka ogubalagala (ttiya ggaasi) ku kugulu n’alumizibwa. Katikkiro asabye abakuuma ddembe bulijjo okukola emirimu gyabwe mu bukkakkamu kubanga bwe bataba beegendereza bayinza okutuusa obulabe obw’amaanyi […]

Omukulu W’Ekika Ky’Effumbe Mbirozankya Eyakulembera Banne Okugenda e Namibia Okulaba Kabaka Kkooti Emugobye!

Kkooti ya Kisekwa eramudde ku bukulu Bw’Ekika ky’Effumbe, nga kino kya kufuna Omutaka omuggya oluvannyuma lw’okukizuula nti abadde Jajja ow’akasolya ow’ekika kino, Yusuf Mbironzankya yalya nsowole. Kino kivudde ku nsala y’omusango ogwa waabwa Katikkiro w’e Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n’abalala mu kkooti ya Kiskewa, okukizuula nti Omutaka Yusuf Mbironzankya tali mu buufu bwa Kisitu […]

Okwabya Ennyimbe Mpisa ya Buganda Tekuliimu Ssitaani-Katikkiro

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze abantu mu Buganda okunnyikiza empisa y’okwabya ennyimbe n’okugoberera obulombolombo obugendera ku mukolo ogwo. Kamalabyonna agamba nti okwabya olumbe mukolo muzzaŋŋanda era gwa ssanyu kubanga guyamba abantu okuddamu okusisinkana, okumanyagana n’okwezza obuggya oluvannyuma lw’okuviibwako omuntu waabwe. Mukuumaddamula era avumiridde eky’abantu obazze badibya empisa eno nga bagiyita eya sitaani, n’agamba […]

Gavumenti Eddizza Radio ya Kabaka Eya CBS Layisinsi Eyali Yagiggyibwako

Kyaddaaki gavumenti eddizza Radio ya Kabaka CBS layisinsi yaayo gye yali yayimiriza emyaka mingi egiyise okuva mu mwaka gwa 2009. Minister w’eby’amawulire ne ICT, Chris Baryomusi y’akwasizza Ssenkulu wa CBS Michael Kawooya Mwebe lalyisinsi eno. Omukolo guno gubadde ku kitebe kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya UCC ekisangibwa e Bugoloobi mu kibuga Kampala. Radio ya […]

error: Content is protected !!