“Okuddiza guba mwoyo, n’owuwo akumma.” Mu mbeera eyo, Obwakabaka bwa Buganda buddizza ku bantu ba Nniyimu, abayizi mu ssomero lya Bbowa Vocational Secondary School bwe buwaddeyo entebe abayizi kwe batuula 100 okubasobozesa okusomera mu mbeera ennungi nga yeeyagaza. Enteekateeka eno eri mu kaweefube w’okusitula omutindo gw’eby’enjigiriza mu nsi ya bwoobwe Buganda. Bwe yabadde awaayo entebe […]
BYA BRENDA NANZIRI Omukubiriza w’olukiiko lw’abataka ba Buganda, Omutaka Namwama Augustine Mutumba asabye abakulebenze mu bika okukola ebyo ebiweesa Obuganda ekitiibwa. Bino Namwama abyogeredde mu lukiiko ba jjajja ab’ebika eby’enjawulo mwe banjulidde ba Katikkiro baabwe wamu n’ababamyuka baabwe nga luno lutudde mu bimuli bya Bulange e Mengo. Omutaka Namwama Augustine Mutumba, Bulange e Mengo, Ebika […]
“Okuwangaala emyaka emingi tekigasa nga tolina kyamakulu ky’okola mu bulamu, kye kiseera buli muntu omulamu olwaleero obeereko ky’okola ekiyamba ensi naawe ng’omuntu ssaako abakwetoolodde,” ebyo bye byabadde ebigambo bya Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga. Okwogera bino, Katikkiro yabadde mu kusabira omugenzi Zebib Solomon Kavuma, abadde mukyala wa Paul Robert Kavuma mutabani w’omugenzi Owek: Godfrey […]
Empaka z’obwannalulungi ezimaze ebbanga nga ziyindira mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe kya ddaaki zikomekkerezeddwa. Abawala ababalagavu 10 be batuuse ku z’akamalirizo ku mukolo oguyindidde ku Bredo Hotel mu kibuga Mukono. Omumyuka wa Ssekiboobo nnamba bbiri omugole ekyaliko n’omuzigo, Fred Katende y’abadde omugenyi omukulu ku mpaka zino ng’abasazi baazo bayokyezza abavuganyizza ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo […]
Ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Buikwe nga bakulembeddwa amyuka RDC w’e Buikwe Lydia Kalemeera ne DPC w’e Lugazi John Lukooto banunudde abayizi ababadde balinga abali mu buwambe ku ssomero ng’abalikulira babasiibya njala nga n’abasomesa ku ssomero tewali. Essomero lya Victoria High School erisangibwa mu kibuga Lugazi lye liggaddwa n’abayizi omwenda abasangiddwayo ne batwalibwa ku poliisi okulelerwa […]
BYA BRENDA NANZIRI Abadde Ssekiboobo atwala essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya, Ssaabasajja Kabaka gwe yasiimye awummule oluvannyuma lw’emyaka etaano egy’obuweereza awaddeyo woofiisi eri amuddidde mu bigere. Omukolo guno ogubadde ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe gukoleddwa mu maaso ga Minisita wa gavumenti ez’ebitundu e Mengo Joseph Kawuki n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ku mutendera […]
Ng’enkuba yaakatandika okutonnya mu bizinga by’e Buvuma, amakubo gaatandise dda okukaabya abaayo akayirigombe. Erimu ku gafuuse ekizibu, lye liva ku mwalo e Kirongo mu ggombolola y’e Busamuzi ewagoba ekidyeri ekisaabaza abantu okuva ku lukalu e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe nga lino liyitamu okugenda e Kasaali mu ggombolola y’e Nairambi nga lye limu ku matono […]
Ttiimu ya Man U esimattuse ekibambulira ba muntu nsolo aba Coventry City bwe babuuze katono okubattamu omuntu. Man U yakulembedde omupiira guno ne ggoolo 3 aba Coventry ne babava emabega ne babayunga eddakiika 90 ne ziggwako nga balippaganye ku ggoolo 3 ku 3. Bano bayolekedde mu ddakiika 30 ne guggwako nga teri kalungi buli ludda […]
Mu kaweefube w’okwagala okuyamba abaana mu bizinga by’e Buvuma okufuna omukisa ogusomako, omusumba w’ekkanisa atwala ebizinga by’e Buvuma Rev. Brian Kiggundu yatandika essomero lya St. Peters Nursery and Primary School erisangibwa ku kitebe ky’obusumba e Walwanda mu Buvuma tawuni kkanso. Wabula embeera essomero lino gye lirimu mu kiseera kino yetaaga ssaala oba tugambe nti eyungula […]
Okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu bulabirizi bw’e Mukono y’emu ku mpagi enkulu omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ze yateeka ku mwanjo nga yaakatuula mu woofiisi mu kaweefube we gw’aliko ow’okubbulula ekkanisa n’Abakulisitaayo okuva mu nnawookeera w’obwavu. Omulabirizi Kagodo yagamba nti essira ayagala liteekebwe ku kulima emmwanyi, ebitooke, n’ebirime ebirala ssaako okulunda n’okusimba emiti. Wansi w’enteekateeka […]