Mulimira yakkaatirizza nti buli mulimi oba omulunzi kye yeetaaga agenda kukisanga mu mwoleso guno omuli n’ensigo ez’embala oba eddagala erifuuyira okuva mu kkampuni ezikola eddagala lino oba ensigo ssaako ezo ezirituusa okuva mu nsi z’ebweru olwo abalimi n’abalunzi basobole okwewala ebicupuli bye baludde nga beekokkola.
Abakulembeze mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono bateeseteese omwoleso gw’eby’obulimi, n’obulunzi ogunaabeera ku kitebe ky’eggombolola omulundi ogw’okubiri.
Harriet Luzira Namatovu nga y’atwala abakozi ba gavumenti mu ggombolola y’e Kyampisi, ategeezezza nti okuddamu okutegeka omwoleso guno kiddiridde omwoleso gwe baategeka omwaka oguwedde ogwettanirwa ennyo abantu okuli abaayolesa ate n’abo abajja okubaako bye bayiga okuva mu bakugu, ssaako abaagula ebimu ku bintu eby’omutindo ebyayolesebwa aboolesi ab’enjawulo.
Luzira yagambye nti obutafaananako nga bwe gwali omwaka oguwedde, omwoleso guno ogugenda kati okubeerangawo buli mwaka gwakumala ennaku ssatu okuva nga August 6,7 ne 8.

Mukono’s Kyampisi Sub-county to Host Annual Agriculture Exhibition
“Ku mulundi guno, abakugu baffe beekenneenyezza abantu abagenda okwolesa nga batunuulidde abo abakola ebintu mu ngeri ey’omulembe. Okusingira ddala, ku mulundi guno essira tulitadde ku balina obukugu mu kugatta omutindo ku birimibwa n’ebirundibwa kiyambe abantu okwongeza ku nnyingiza yaabwe nga bayita mu kutunda ebintu ebigattiddwako omutindo kuba kino n’omukulembeze waffe, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ky’asiiba asimbako essira,” bwe yategeezezza.
Yagambye nti abantu abaaganyulwa mu nteekateeka ya Parish Development Model (PDM) nga baliko ebintu bye bakola, omuli abo abagattako omutindo nabob agenda kuweebwa ebifo boolese ebyo bye bakola n’okubitunda eri abanajja mu mwoleso.
“Omukisa guno tugenda kuguwa n’abava ebweru w’eggombolola yaffe, kasita banaatutuukirira mu budde ne tubateekerateekera ebifo,” bwe yagambye.
Ono yakoowodde abantu okuva mu ggombolola y’e Kyampisi okwetegeka okujja okwetaba mu mwoleso guno kibayambe okufuna obukugu okuva mu bakugu mu by’obulimi, mu by’obulunzi ssaako okwefunira ensigo ez’omutindo oba eddagala erikozesebwa mu kufuuyira ebirime n’ebisolo eritali lya bicupuli nga bwe bazze beemulugunya ku ddagala lye bagula mu maduuka agatunda eby’obulimi n’obulunzi mu bitundu byabwe.
Koome Islands’ Twin Crisis: Falling Fish Catches Fuel Forest Destruction
Timothy Mulimira nga ye mulimisa ow’eggombolola y’e Kyampisi yategeezezza nti mu ggombolola eno balinamu amaka agasoba mu 23,000 ng’agasinga ku gano geenyigira mu by’obulimi n’obulunzi nga y’ensonga lwaki bwe baategeka omwoleso omwaka oguwedde ogwamala ennaku ebbiri gwajjumbirwa nnyo ne basalawo n’okufuula enteekateeka eno eya buli mwaka.
Mulimira yakkaatirizza nti buli mulimi oba omulunzi kye yeetaaga agenda kukisanga mu mwoleso guno omuli n’ensigo ez’embala oba eddagala erifuuyira okuva mu kkampuni ezikola eddagala lino oba ensigo ssaako ezo ezirituusa okuva mu nsi z’ebweru olwo abalimi n’abalunzi basobole okwewala ebicupuli bye baludde nga beekokkola.
“Ekirungi ogw’omunaana abantu bajja kuba beeteekerateekera kusiga, kati oli olunaava mu mwoleso ng’agenda ateeka mu nkola amagezi g’anaaba aggye mu bakugu ssaako okusimbirawo ensigo ez’embala ze banaaba bafunye mu mwoleso,” bwe yategeezezza.
Hakim Ssenyonga nga mukozi ku ggombolola y’e Kyampisi yagambye nti baakizuula nti nga bayitira mu myoleso ekika kino, obwetaavu bw’abalimi n’abalunzi bujja kusobola okugonjoolwa ng’era kino baakirozaako mu mwoleso ogwasooka ogwaliwo omwaka oguwedde.
Ssenyonga yagasseeko nti okumala ebbanga, abalunzi babadde beemulugunya nti bwe bagula eddagala erifuuyira enkwa eriri ku katale, enkwa tezikyafa wabula zongera kunyirira bunyirizi.
Harriet Nabisiga nga y’akwasaganya obulunzi bw’enjuki mu ggombolola eno agamba nti bingi ku byakolebwa mu mwoleso ogwasooka byaleka abaagwetabamu okwali abaayolesa n’abantu baabulijjo baasigalamu ennyonta nga y’ensonga lwaki baasazeewo okuyita mu kkanso y’eggombolola omwoleso guno gubeerengawo buli mwaka.
Nabisiga yategeezezza nti abanajja mu mwoleso baakufuna amagezi ku butya bwe bayinza okuyiga okulunda enjuki, emigaso egiri mu njuki na butya bwe bayinza okufuna mu kulunda enjuki.
Ono agamba nti omubissi gw’enjuki gwa mugaso nnyo mu maka nga gujjanjaba abaana ebifuba, abayokeddwa omuliro, abalina obulwadde bw’enjovu n’ebirala sso ng’era enjuki ziyambako okuwakisa ebirime olwo abalimi ne bafuna amakungula agawerera ddala nga tekyetaagisa na kusooka kufuuyira nnyo.
Ronald Ssekannyo nga mwami wa muluka gw’e Kyabakadde mu ggombolola eno naye akunze abantu okuva mu ggombolola n’ebweru waayo okujjumbira omwoleso guno n’agamba nti gugenda kuleeta abakozi bonna ab’eggombolola n’abava ku ddisitulikiti nga bano baakuddamu ebibuuzo by’abantu bye balina okulaba nga balongoosa empeereza ya ga gavumenti eri abantu ba bulijjo.
Winnie Nassonko nga naye wa muluka agamba nti omwoleso guno era gugenda kwetabibwamu n’abayizi b’amasomero okuli aba pulayimale ne ssekendule ssaako amatendekero aga waggulu ng’abamu ku masomero gaakwolesa ebyo bye bakola ku masomero naddala mu nsomesa empya ssaako abayizi abanajja okuyiga okuva mu bakugu ab’enjawulo.
“Abasomesa babadde batambuza abayizi engendo okugenda e Kampala oba e Jinja okwetaba mu myoleso buli mwaka, guno tuguleese kumpi wano, tubasuubira okujja mu bungi abayizi bayige ate boogere n’abakugu mu bintu eby’enjawulo. Tugenda kubeera n’abakugu mu by’obulimi n’obulunzi, mu by’enfuna, aba bbanka basembedde wano, abayizi mubaleete bayige okuviira ddala ku bakugu,” Nassonko bwe yategeezezza.
Florence Nabisere ne Paul Kalogo ng’ono wa byannyanja mu ggombolola nabo baakunze abantu okuggwayo bajje bayige eby’enjawulo okuva mu mwoleso ogugenda okumala ennaku essatu.
