Obulabirizi bw’e Mukono bugaanye era ne bugoba omukulu w’essomero omuggya agambibwa nti minisitule y’eby’enjigiriza gwe yasindise okudda mu bigere by’akulira essomero lya Mukono High School ng’ono yatuusizza emyaka egiwummula emirimu gya gavumenti. Fredrick Kawumi Mbaziira ye mukulu w’essomero lya Mukono High School aliwo mu kiseera kino ng’ate minisitule gwe yabadde asindiseeyo ye Richard Katongole ng’ono […]
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akunze Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’akulembera okuva mu tulo basitukiremu balwanirire ettaka ly’ekkanisa. Bp. Kagodo agamba nti tekigasa Abakulisitaayo okweyisa ng’Abatuukirivu ng’eno bbo ababbi b’ettaka bwe bamalawo ettaka ly’ekkanisa. Omulabirizi agamba nti okumala ebbanga ddene, ng’ekkanisa babadde beekubira enduulu mu bavunaanyizibwa mu gavumenti okuli okuloopa emisango ku poliisi ng’ebintu […]
For decades now, the government introduced the growing of oil palm plants mainly for the people in the islands as an alternative means of livelihood. Having started in Kalangala district in 1998 where it is believed to have caused a very positive change, the government switched the business to also benefit the islanders in Buvuma […]
Abavubi n’abasuubuzi ba mukene emirimu gyabwe egyaggwawo oluvannyuma lw’okuwera envuba ya munene amanyiddwa nga hariyaapu balaajanidde omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ne bamusaba abatuusize eddoboozi lyabwe eri pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abaddiremu. Bano eddoboozi lyabwe baaliyisizza mu mukubiriza w’obusumba bw’e bizinga by’e Buvuma Milly Nampiina eyategeezezza omulabirizi Kagodo nti okuva gavumenti lwe yayimiriza […]
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo atongozza bboodi empya eya bbanka y’obulabirizi bw’e Mukono eya Mukono Diocese SACCO (MUDISACCO). Bp. Kagodo abakulembeze abaggya abalondeddwa abakunze okubeera abeerufu, abaayiiya era abeetefu okugatta omutindo ku bbanka eno okuyita mu kuteekawo engeri ez’enjawulo ezinaasikiriza Abkulisitaayo mu bulabirizi okugyegattako batandike okutereka n’okwewola ensimbi, bakole basobole okukulaakulana. Bannakibiina kya […]
Abaweereza mu kkanisa ku mitendera egy’enjawulo mu bulabirizi bw’e Mukono beekubidde enduulu eri omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni ne bamusaba ayambe ensi akome ku Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja gwe bagamba nti asusse okulengezza bakulembeze banne nga kati asitukidde mu b’ekkanisa. Bano bagamba nti Minisita Mayanja n’ekolaye ey’emirimu etuuse okwongera okudibaga emisango gy’ettaka n’enkaayana kuba […]
Mukono diocese has put a ban on promenade parties commonly known as prom parties from the church founded schools with immediate effect. The ban has been sounded by the bishop of Mukono diocese, Enos Kitto Kagodo while meeting the headteachers from the four districts of Mukono, Buikwe, Kayunga and Buvuma. The meeting was held on Thursday at […]
Okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu bulabirizi bw’e Mukono y’emu ku mpagi enkulu omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ze yateeka ku mwanjo nga yaakatuula mu woofiisi mu kaweefube we gw’aliko ow’okubbulula ekkanisa n’Abakulisitaayo okuva mu nnawookeera w’obwavu. Omulabirizi Kagodo yagamba nti essira ayagala liteekebwe ku kulima emmwanyi, ebitooke, n’ebirime ebirala ssaako okulunda n’okusimba emiti. Wansi w’enteekateeka […]
Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akoze enkyukakyuka mu basumba mu bulabirizi n’ajjuza ekifo ky’abadde Ssaabadinkoni w’e Ndeeba eyasuumuse n’afuuka omulabirizi w’e Luweero Bp. Wilson Kisekka. Ven. David Ssekimpi nga y’abadde Ssaabadinkoni w’e Bbaale yatwaliddwa okubeera Ssaabadinkoni w’e Ndeeba ng’azze mu bigere bya Bp. Kisekka, ng’ono yatuukiddwa ng’omulabirizi w’e Luweero omwezi oguwedde ng’adda mu bigere […]
Abakuliaitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono bajjumbidde okusaba kw’okukuza amazuukira ga Yesu wadde ng’enkuba mu bitundu bino ekedde kutonnya ekiremesezza abamu okukeera okugenda mu kusaba. Ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya, Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo y’akulembeddemu okusaba kuno. Kagodo mu bubaka bwe akubye bannabyabufuzi akaama abagufudde omugano okukozesa emitimbagano naddala emikutu gi mugatta […]
