Omusumba wa Klezia atwala essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza agguddewo ennyumba amatiribona eya ba ffaaza ezimbiddwa Abakristu ku kigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa. Omusumba Kakooza asiimye Abakristu, ba ffaaza abakulembeddwa bwanamukulu, Fr. Denis Kibirige n’omuyambiwe, Fr. Henry Wamala ssaako ba Ssaabakristu ab’enjawulo abazze babakolamu omulimu gw’okusonda ensimbi ezizimbye ennyumba eno okumalirira ddala ebbanga lya […]
Bya Tony Evans Ngabo Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze n’abasaabaze abakozesa oluguudo lwa Kampala-Jinja akabenje bwe kagudde e Namboole ne katuga abantu abasoba mu 10 ate abali eyo mu 50 ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bataawa. Akabenje kano akasannyalazza n’eby’entabula ku luguudo lwa Northern Bypass oludda ku ttaawo ly’e Namboole oluvannyuma lwa lukululana nnamba UBB 520H […]
Bya Tonny Evans Ngabo Ng’embeera eyongera okubeera ey’obunkenke mu kibuga Kampala n’ebitundu ebimu mu disitulikiti y’e Wakiso olw’eby’okwerinda ebitabuse mu kiseeraa ng’eggwanga lyolekedde ennaku enkulu, amabaala n’ebifo ebisaanyukirwamu biteereddwako obukwakkulizo obukakali. Embeera eno eddiridde bbomu ebbiri ezaatulikidde mu bifo eby’enjawulo e Kikubamutwe mu Kabalagala n’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana ku Lwomukaaga. Omubaka wa Pulezidenti […]
Bya Tonny Evans Ngabo Abawala abaakyali abato balabuddwa okwewala okutandika ebikolwa eby’okwegatta nga tebanneetuuka. Abakugu mu nsonga z’eby’obulamu bagamba nti kino kye kimu ku bivaako ekirwadde kya kkansa wa nnabaana (cervical cancer) akyasinze okutta abakyala mu Uganda. Dr. Frank Kalyango nga y’akulira eddwaliro lya Bulondo Health Centre III erisangibwa mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti […]
Bya Tony Evans Ngabo Omukungu okuva mu kitongole ki Advocates Coalition for Development and Environment (ACODE) ekivunanyizibwa ku kulondoola wamu n’okutumbula enkola n’enfuga ennungi mu bakozi ba gavumenti wamu n’ebitongole eby’enjawulo Prof. Auther Bainomugisha, asabye abakulembeze ku ssemazinga wa Africa okuva mu kunawuuzanga entalo ezitadde ensi zaabwe mu matigga. Bainomugisha ng’era musomesa ku Kyambogo University […]
Gen. Edward Katumba Wamala ne gye buli eno bw’ajjukira engeri gye yasimattuka amasasi ne kiba nga we butuukidde olwaleero ng’enkuyege zikyamukubira enduulu, agamba nti talema kufukamira n’asabako n’okwebaza Katonda kuba tebwali busobozi bwe ng’omuntu wabula ekisa ky’oyo eyamutonda. “Bannange mmwe okuba nga mundabako olwaleero ne njogera gye muli, tebwali busobozi bwange kuba mbu ndi munnamagye […]
Bya Tony Evans Ngabo Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere ayanukudde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yavuddeyo n’agamba nti eggwanga bwe linaaba lyakulinnya ku nfeete ekirwadde kya Siriimu (HIV/AIDS) abazadde tebasaanidde kusasula bisale mu masomero. Museveni ng’asinziira mu disitulikiti y’e Rakai eggwanga gye lyakulizza olunaku lwa Siriimu olw’ensi yonna ku Lwokutaano […]
Omulabirizi w’Obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo atongozza kaweefube w’okuzimba Lutikko ya Mukono ey’Abatukuvu Firipo ne Ndereya empya. Kagodo asinzidde mu kusaba okutegekeddwa mu Lutikko enkadde mu ttuntu lya leero ku Lwokusatu n’ategeeza nti oluvannyuma lwa Lutikko eno eyazimbibwa emyaka egikunukkiriza mu 90 mu mwaka gwa 1936 okuba ng’efunze tekyamala, obulabirizi bwasazeewo okuzimba empya enaaba […]
Ssenkaggale w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu a.k.a Bobi Wine alambudde ku Mubaka wa palamenti owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’asanga ng’embeera y’obulamu bwe ewa ku ssuubi. Ssegirinya aludde ng’ebirwadde bimugoya n’abamu ku booluganda lwe, mikwano gye egy’okulusegere n’abawaguzibe ne batuuka okuggwamu essuubi. Wabula Kyagulanyi w’amutuukiddeko, ng’embeera ye ezzaamu amaanyi. Ssegirinya yasiibulwa […]
Ng’Abaganda bwe baagera nti “Omumpi w’akoma w’akwata”, oluvannyuma lw’okutuuyana n’ebibuuzo, essomero omuzi anywedde mu banne akendo limuwadde kamyu ne bamukuutira atandike okulunda naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula oluwanvu. Abayizi babbinkanye mu mpaka z’olulimi Oluganda mwe bababuulizza ebibuuzo eby’enjawulo ebikwata ku buwangwa n’ebyafaayo bya Buganda ssaako kalonda akwata ku bukulembeze bwa era n’ebyafaayo […]
