Ssebwana Yennyamidde Olw’omuwendo gw’Abawala Abangi Abaddukira mu Bawalabu Okukuba Ebyeyo

Bya Tony Evans Ngabo Ng’abazadde mu ggwanga lyonna bali mu keetereekerero ak’okuzza abaana mu masomero agagenda okuggulawo mu butongole olunaku lw’enkya ku Mmande, Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ying. Charles Kiberu Kisiriiza akangudde ku ddoboozi eri abazadde abatayagala kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuweerera abaana be bazaala. Ssebwana okusinga anokoddeyo abazadde abawangaalira mu bizinga […]

Kitalo! Omuyimbi Baby Deo Afiiridde mu Kabenje

Ekisaawe ky’okuyimba kiguddemu ekikangabwa, omuyimbi Deo Mbaziira amanyiddwa ennyo nga Baby Deo Star bw’afiiridde mu Kabenje. Baby Deo afiiridde mu kabenje mu bitundu by’e Kyengera ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Masaka. Poliisi omulambo gwa Baby Deo egututte mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago ng’okunoonyereza ku kivuddeko akabenje Kano bwe kugenda mu maaso. Abayimbi bangi […]

Abatuuze Beekokkodde Abachina Abayasa Amayinja-Gajjamu Abakyala Embuto

Bya Tony Evans Ngabo Abatuuze okuva ku byalo bisatu okuli Bumera, Buteregga, Busawuli ne Kkongojje, mu gombolola ye Mende mu disitulikiti y’e Wakiso  basobeddwa ekka  ne mu kibira  olwa kkampuni y’Abachina eyasa  amayinja eya  King Long gye bagamba nti ebamazeeko emirembe n’okukaluubiriza obulamu mu byalo kwe bawangaalira. Bano beemulugunya nti mu kwasa amayinja gano olw’okuba […]

Obuteesiga Gavumenti Buleetedde Pulogulaamu Y’okufukirira ebirime Okuzingama-Dr. Matia Bwanika

Bya Tony Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Bwanika alaze okunyolwa ng’agamba nti bangi ku Bannayuganda tebaakyesiga pulogulaamu za gavumenti ekiviiriddeko ezimu ku pulogulaamu okukonziba ng’abantu balinga abaazizira. Ssentebe Bwanika anokoddeyo enteekateeka ya gavumenti mw’eyita okuwa abantu ebyuma ebyeyambisibwa mu kufukirira ebirime emaanyiddwaa nga ‘micro irrigation scheme’ ng’eno mu kiseera kino tennatambula […]

Katikkiro Awabudde Gavumenti Okuteeka Enkizo ku By’obulimi N’obulunzi

Katikkiro wa Uganda, Charles Peter Mayiga alambudde ebifo eby’enjawulo ewali okunoonyereza n’okugatta omutindo ku birimibwa n’okulunda mu ggwanga wansi w’ekitongole kya National Agricultural Research Organisation (NARO) nga kino kyatta omukago n’Obwakaka bwa Buganda okulaba ng’ebyo ebikolebwa mu bifo bino eby’enjawulo bisaasaanyisibwa mu bantu ba Kabaka okusingira ddala abavubuka mu masaza ag’enjawulo. Mu bifo Katikkiro by’alambudde […]

Ssaabasumba Ayambalidde Abazadde N’abasomesa Abaganza Abaana Abato

Bya Tony Evans Ngabo  Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere ayambalidde abazadde abaami n’abasomesa abeegbulidde okukkira abaana abato ne babasobyako. Ssaabasumba agambye nti ekikolwa kino kiswaza nnyo ssi eri abokka abakikola ne ffamire zaabwe wabula n’eggwanga lyonna. Ssaabasumba okukangula ku ddoboozi abadde akulembeddemu ekitambiro ky’emmisa ey’okukuza olunaku lw’Omutukuvu Yowaana Maria Muzeeyi wamu […]

Kitalo! Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda Dr. Donald Muguluma Afudde!!!

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’abadde omukiise w’essaza ly’e Kyaggwe mu lukiiko lwa Buganda, Dr. Donald Ddamilira Muguluma.  Dr. Muguluma ng’abadde mutuuze mu kibuga ky’e Mukono ku kyalo Nabuti okumpi n’essomero lya Seeta Junior School Mukono abadde musawo omutendeke ng’alina eddwaliro mu paaka e Mukono n’e Bweyogerere. Amawulire g’okufa kwa Dr. Muguluma gaafulumye […]

Kkansala Nambooze gwe yavuma amalibu bamusondedde ssente n’agula amannyo n’acacanca

Story ya Insight Post UG Kkansala ku lukiiko lwa Mukono Central divizoni, Fred Kiyimba essanyu alina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’abatuuze okwekolamu omulimu ne bamusondera amannyo amazungu ne bamuwonya ekizibu ky’amalibu. Kiyimba amannyo gaamusondeddwa bammemba ku mukutu gwa WhatsApp ogumanyiddwa  nga ‘Mukono Municipality for All’ ng’enteekateeka zino zaakulemberwamu omumyuka wa RDC w’e Mukono, Mike […]

error: Content is protected !!