Bya Tony Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika acoomedde abakulira eby’obulamu mu disitulikiti eno olw’okulagajjalira ensonga z’eby’obulamu nga bano ebiseera ebisinga babimalira mu zi ‘workshop’ okusinga okukola emirimu egya baweebwa. Bwanika ategeezezza nti abasawo naddala abali mu bifo eby’enkizo obudde obusinga babumala mu kulya bikyepere mu zi wooteeri ze babeeramu […]
Livingston Kizza Lugonvu nga mutabani w’omugagga Wilson Mukiibi Muzzanganda essanyu alina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’okuyitira waggulu ebigezo bya S.4. Lugonvu ng’abadde asomera ku ssomero lya Uganda Martyr’s e Namugongo yafunye obubonero 8 n’aleka omugagga Muzzanganda nga musanyufu bya nsusso. Ono ng’ebibuuzo we byafulumidde y’abadde ali ku ssomero lya taatawe erya Muzza High […]
Bya Tony Evans Ngabo Abatwala ekkomera lya gavumenti erya Kitalya Mini Max Prison beekokkodde omujjuzo gw’abasibe abali mu kkomera lino ogwongera okulinnya buli lukya. Bano bagamba nti wadde ekkomera lino lirina okubeeramu abasibe 2000, we twogerera ng’abaliyo bakunukkiriza kuwera 3000, ekibaleka mu kusomooza okwamaanyi. Bino abatwala ekkomera ly’e Kitalya babitegeezezza bammemba b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka […]
Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi okulaba w’e gutuuse. Omuteregga asiimye ebikolebwa n’agamba nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi. Mu masiro g’e Kasubi we wasangibwa ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga ng’eno Bassekabaka ba Buganda abana abasembayo mwe baaterekebwa. Amasiro gano abatamanyangamba baagateekera omuliro nga March 17, 2010 nga […]
Eklezia mu Lutikko e Lubaga ewuumye nga Charles Bbaale Mayiga Junior, mutabani wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeewangulira obufumbo obutukuvu. Charles Bbaale Mayiga Junior agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne, Sonia Elizabeth Nabagereka, ng’omusumba wa Klezia ow’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba y’akuliddemu omukolo guno. Omukolo guno gusitudde ebikonge okuli Maama wa Buganda, […]
Omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke awakanyizza enteekateeka ya gavumenti ey’okusengula bbaalakisi ya Poliisi esangibwa e Mulago olw’eteekateeka yaayo ey’okugaziya eddwaliro lino erya Mulago National Referral Hospital. Nambooze agamba nti tewategekeddwawo kifo we bagenda kusengulira baserikale ababadde mu kifo kino ye ky’agamba nti kikyamu kubanga nabo bantu abatasaanidde kuyisibwa ng’eky’omunsiko. Omubaka […]
Ba RDC okuva mu bitundu ebikola disitulikiti za Buganda ez’enjawulo beerwanyeeko mu bakaama baabwe nga bagamba nti basusse okubeera mu bunkenke olw’abamenyi b’amateeka naddala ababbi b’ettaka abatulugunya n’okusengula abantu ababatiisatiisa n’okubajwetekako ebisangosango n’ebigendererwaa eby’okubagobesa mu woofiisi. Bano bagamba nti buli lwe babeerako okusalawo ku nsonga enkulu mu bitundu byabwe, abanene abeerimbise mu nsonga ezo omuli […]
Jjajja ku mwalo e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono asula atunula ng’entabwe eva ku muzzukuluwe omuwala ow’emyaka 11 eyabuze ewaka. Florence Nagadya (57) agamba nti takyakomba ku mpeke ya tulo okuva muzzukuluwe Birungi Nakidde lwe yabula n’ava ewaka. Nagadya agamba nti baggulawo omusango ku poliisi e Katosi ku ffayiro nnamba SD 19/09/11/2023 ssaako okubuna ebyalo […]
Abayizi ne bazadde baabwe bakedde mu mmisa ku kigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa e Mpoma, Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. Denis Kibirige mw’asinzidde okubasabira omukisa nga beeteekateeka okudda ku masomero. Abamu ku bano oluvudde mu mmisa ne boolekera ku masomero okutandika olusoma lwa ttaamu eggulawo omwaka sso ng’ate abalala baakugenda lunaku lwa nkya okusoma lwe […]
Bya Tony Evans Ngabo Ng’abazadde mu ggwanga lyonna bali mu keetereekerero ak’okuzza abaana mu masomero agagenda okuggulawo mu butongole olunaku lw’enkya ku Mmande, Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ying. Charles Kiberu Kisiriiza akangudde ku ddoboozi eri abazadde abatayagala kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuweerera abaana be bazaala. Ssebwana okusinga anokoddeyo abazadde abawangaalira mu bizinga […]
