Omulabirizi w’Obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo atongozza kaweefube w’okuzimba Lutikko ya Mukono ey’Abatukuvu Firipo ne Ndereya empya. Kagodo asinzidde mu kusaba okutegekeddwa mu Lutikko enkadde mu ttuntu lya leero ku Lwokusatu n’ategeeza nti oluvannyuma lwa Lutikko eno eyazimbibwa emyaka egikunukkiriza mu 90 mu mwaka gwa 1936 okuba ng’efunze tekyamala, obulabirizi bwasazeewo okuzimba empya enaaba […]
Ssenkaggale w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu a.k.a Bobi Wine alambudde ku Mubaka wa palamenti owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’asanga ng’embeera y’obulamu bwe ewa ku ssuubi. Ssegirinya aludde ng’ebirwadde bimugoya n’abamu ku booluganda lwe, mikwano gye egy’okulusegere n’abawaguzibe ne batuuka okuggwamu essuubi. Wabula Kyagulanyi w’amutuukiddeko, ng’embeera ye ezzaamu amaanyi. Ssegirinya yasiibulwa […]
Ng’Abaganda bwe baagera nti “Omumpi w’akoma w’akwata”, oluvannyuma lw’okutuuyana n’ebibuuzo, essomero omuzi anywedde mu banne akendo limuwadde kamyu ne bamukuutira atandike okulunda naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula oluwanvu. Abayizi babbinkanye mu mpaka z’olulimi Oluganda mwe bababuulizza ebibuuzo eby’enjawulo ebikwata ku buwangwa n’ebyafaayo bya Buganda ssaako kalonda akwata ku bukulembeze bwa era n’ebyafaayo […]
Bya Lilian Nalubega Mengo ezzeemu okuyungula abakungu baayo okuddayo ku butaka bw’ekika ky’e Mpologoma mu kaweefube gw’eriko okutaawulula enkaayana eziriwo ku ttaka ly’obutaka bw’ekika kino ne munnamagye eyawummula Gen. Elly Kayanja. Ttiimu yakulembeddwa Minisita w’eby’obuwangwa, embiri, amasiro n’eby’okwerinda e Mmengo, Anthony Wamala, Ssaabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika, minisita w’olukiiko, kabineeti, abagenyi ne w’ofiisi ya Katikkiro […]
Bya Tony Evans Ngabo Embeera ku ssomero lya Kasanje Church of Uganda Primary School mu Kasanje ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Waakiso yeeralikirizza abatwala eby’enjiriza wamu n’abakulembeze ba disitulikiti eno. Bano bagamba nti ebizimbe ebisinga abayizi mwe basomera bikutte mu mbinabina, ebimu bikadde nnyo ng’ate bitonya ekitagambika nga mu kiseera kino abamu ku bayizi basomera […]
Bya Tony Evans Ngabo Abatuuze ba Kireka D, Kasokoso, Kiganda ne Acholi Quarters ebisangibwa mu Namugongo Division mu munisipaali y’e Kira beegugunze ne beekalakaasa ekiddiridde kukuma muliro mu makubo ne bookya ebipiira ssaako okukanyuga amayinja nga balwanagana n’abasirikale ba poliisi wamu n’amagye ga UPDF abazze okubasengula ku ttaka poliisi ly’egamba nti lya Barracks. Bano beesudde […]
Bya Tonny Evans Ngabo Omuwendo gw’amaka agakuumirwamu abaana abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde. Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo. Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e […]
“Tuli basanyufu nnyo olwa Bannaffe okuva mu Bwakabaka bwa Buganda wamu n’abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala abatuwagidde mu bungi. Embaga ya Mwenemu yaakubeera ya kitiibwa nnyo era ya byafaayo,” Katuukiro Dr. Muvawala bwe yategeezezza. Bya Tony Evans Ngabo Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala agumizza Abasoga ng’enteekateeka zonna bwe ziwedde ez’embaga y’omwaka eya […]
Buli mwaka nga November 12, lwe lunaku omu ku Bajulizi ba Uganda, Ponsiano Ngondwe lwe yattibwa ng’era Abakristu okuva mu ssaza lya Klezia ery’e Lugazi lwe balamaga ku kiggwa ky’omujulizi ono e Bulimu. Essaza ly’e Lugazi likolebwa disitulikiti nnya okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma ng’Abakristu okuva mu bitundu eby’enjawulo eby’essaza beeyiye mu bungi e […]
Bya Lilian Nalubega Abasikawutu bennyamidde olw’abakyala abazaala abaana kyokka ne babasuula ekibaviirako bangi okufa n’abo abalondebwa ne bakuzibwa abantu abatabalinaako luganda ne bakula nga tebalina mukwano gwa bazadde buli muntu gwe yandyetaaze. Abasikawutu bano bagamba nti omuntu yenna okukula obulungi aba asaana okusooka okuyonka ebbanga lye erisooka ery’emyaka ebiri nga bwe kirambikibwa obulungi abasawo era […]